Eby‘obulunzi bifuna amagoba mangi singa ensolo zirabirirwa bulungi. Obulunzi bw‘ebinyonyi buwa abalunzi ebirungi bingi mu ngeri ez‘enjawulo.
Wabula ebinyonyi bikosebwa okubojjagana mu ngeri y‘okwebojja ebyoya, okwebojja obugere kirina okukomezebwa okulaba nga bikula bulungi. Kikubirizibwa okubiwa amazzi amayonjo, yisaawo akadde okungaanye amagi era olongoose bulungi ebiyumba by‘enkoko okuzisobozesa okukula obulungi wamu n‘amagoba amangi.
Emigaso gy‘okulunda ebinyonyi
Ekisooka, amagi g‘enkoko n‘ennyama yaazo egulibwa nnyo olwo n‘ofunamu ssente.
N‘ekirala obulunzi bw‘ebinyonyi buwa amagoba ag‘amangu kuba abalunzi b‘enkoko z‘amagi bbatandika okufunamu wakati wa wiiki 17 ku 21 wabula abalunda ez‘ennyama bafunamu wakati wa wiiki 6 ku 8.
Okwongerezaako, ebinyonyi byetaaga ssente ntono ez‘okukozesa kuba ebinyonyi tebyetaaga byuma bya maanyi ate era zeetaga ekifo kitono.
Okweyongerayo, enkoko z‘ennyama ziwa ennyama mu kaseera katono olwo amagoba ne gadda mangu.
Enkoko ziwa nnakavundira, ono akozesebwa okugimusa enkula y‘ebimera wamu n‘okumutunda okufuna ssente za faamu.
Obulunzi bw‘ebinyonyi buleetera faamu olw‘amagoba amangi agafunibwa ku faamu okweyimirimizaawo ate n‘ekisembayo ebyoya ebiva ku binyonyi bisobola okutundibwa okufuna ssente ku faamu.
Eby‘okuteekako essira
Ebinyonyi biriisenga emmere erimu ebiriisa okusobola okukula obulungi wamu n‘okwongera ku bungi bw‘ennyama n‘amagi.
Kakasa nti ozimba ebiyumba ebirungi okwongera ku by‘obulamu by‘ebisolo era otoole ku mimwa gy‘ebinyonyi okwewala okubojjagana.
Bulijjo weewale okuteeka ebinyonyi ebingi mu kifo ekimu empewo esobole okuyitaamu obulungi era okyusenga obukuta bw‘enkoko okwewala endwadde.
Ekisembayo teekawo ekifo ekirungi awookuggya amazzi okukendeeza ku nsaasaanya ya ssente ku faamu.