Okukyusa mu mbeera webibeera yemu kunsonga lwaki ebyenyanja tebirya mere. Kino kisinga kubaawo nga oguze obuyamba nobutwala ku faamu y’ebyenyanja. Ekkabyo ku byenyanja eriretebwa enjawulo mu ndabirira okugeza okusengeka ebyenyanja okusinzira ku bunene, okukyusa amazzi mu kidiba biretera ebyenyanja obutalya.
Ensonga endala
Amazzi aganyogoga ennyo gavirako obutayagala kulya, emere etawoma nayo eretera ebyenyanja obutalya.
Ebyenyanja bwebiba ssi bilamu bulungi katugambe nga birumbibwa obulwadde olwo endya yabyo ebeera wansi. Amazzi amakyafu nago garetera ebyenyanja obutalya bulungi.
Ebyenyanja ebinene bwebimira obutono, emimiro gyabyo gizibikira mwako akaseera era olwo ekyenyanja ekyo kiba tekigenda kulya okumala akaseera.
Emere bweba temulunguse bulungi. Kitwala akaseera akawerako nga ekeyenyanja ekinene kigaaya emere okusinga ekyenyanja ekitono nolwekyo obweyanja obutono bulya nnyo okusinga ebinene.
Ekitole ky’emere bwekiba kinene okusinga ku busobozi bw’ekyenyanja byekirya. Ebyenyanja biwenga emere ey’empeke ezisanide.
Bwoba tosengese byenyanja byo bulungi oba nga mu kidiba mulimu ebyenyanja eby’obunene obwenjawulo, obwenyanja obutono buyinza okutya okusembera awali ebinene nga butya okubumira.