»Ensonga 10 eziriisa enkoko amaggi gaazo n‘engeri y‘okukikomyamu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=rRkw8fyd6pU

Ebbanga: 

00:12:37

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Best Farming Tips
»Wali wewunyiza lwaki enkoko ezitaayaya zirya amaggi gaazo? Akatambi kano kannyonyola buli kimu«

Ebinnyonyi okulya amaggi gaazo kikendeza ku nfuna y‘omulunzi ate gyezikoma okuba nga zirya amaggi gaazo ekizibu gyekikoma okukaluba okumalawo.

Okwongerezaako, amabanga agalagiddwa galina okuba ebigere binaabina 4 ku buli ludda n‘ebinnyonyi ebibiika birina okuweebwa emmere ezimba omubiri erimu ekirungo ekiri wakati wa ebitundu 16 ne 18 ku buli kikumi. Ku binnyonyi ebimanyidde okulya amaggi kozesanga ebibiikirwamu nga bisobola okugyawo amaggi ku lwabyo, obupiira obukaluba,teekawo ekibbokisi ne nkoko zitoleko emimwa.

Ensonga n‘okugonjolwa

Okusookera ddala, okutuuka enkoko ennyingi mu kifo ekimu kye kintu ekisinga okuviirako enkoko okulya amaggi era kino kisobola okugonjolwa singa tufuna ekifo ekimala mwezibeera oba enkoko zireke zitaayaye zokka.

Okwongerezaako, bwotafuna bibbokisi mu biikirwa, awo osobola okufuna ekibbokisi kimu ku buli nkoko nnya oba okozese obutimba obwesulira amaggi bwokka.

Ekirala, ebbula ly‘amazzi, livirako ennyonta noolwekyo fuba okulaba nga enkoko oziwa amazzi amayonjo.

Enjala mu binnyonyi nayo ereetera ebinnyonyi okulya amaggi noolw‘ensonga eyo ziwe emmere y‘ebisolo ennungi bulijjo.

Endiisa embi mu binnyonyi bigireetera okulya amaggi noolwekyo yongeramu emmere ezimba omubiri n‘eggumya amagumba n‘amannyo mu mmere y‘ebisolo.

Enkoko zireke zetaaye zireme kuwubaala.

Ekitangaala ekingi mu biyumba nakyo kiviirako enkoko okulya amaggi noolwekyo kendeza ku kitangaala.

Teekawo ebibuzaabuza enkoko zireme kugwebwako mirembe oba ozireke zitaayaye zokka, oba kendeza ku bungi bwazo.

Enkoko ezitandiika okubiika nazo zirya amaggi noolwekyo yongeramu ekirungo ekizimba omubiri n‘ekiggumya amagumba.s

Ekisembayo, okwagala okumanya naddala mu binnyonyi nolwensonga eyo ngazakamala okubiika kugganya amaggioba zireke zitaayaye.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:39Buli kiseera kugganya amaggi enkoko zireme okulya amaggi, okulwawo kuleetera ekizibu obutagonjolwa.
01:4002:40Ensonga n‘engeri y‘okuzigonjolamu; ziteeke mu kifo ekimala oba zireke zitaayaye okukendeza ku omujjuzo.
02:4103:31Kozesa ekibbokisi kimu ku buli nkoko 4 oba kozesa obutimba obusula bwokka amaggi.
03:3204:07Ziwe amazzi amayonjo ate agatukula obulungi okwewala ebbula lyago.
04:0804:38Enkoko ziwe emmere yaazo ennungi zireme kulumwa njala.
04:3905:44Enkoko ziwe emmere ezimba omubiri n‘eggumya amagumba okwewala endiisa embi.
05:4506:54zireke zitaayaye oba teekawo ebizibuzaabuza zireme kugwebwako mirembe.
06:5507:14Kendeza ku kitaangala naddala mu bibbokisi omubikirwa.
07:1508:06Zireke zitaayaye oba kendeza ku muwendo gwazo zireme kugwebwako mirembe.
08:0708:50Enkoko ezitanabiika ziwe emmere erimu ekirungo ekizimba omubiri oba eggumya amagumba.
08:5109:40Kugganya amaggi oluvanyuma lw‘okubiikibwa oba zireke zitaayaye kubanga enkoko zagala nnyo okumanya.
09:4110:53okukomya enkoko ezimanyidde okulya amaggi; kozesa ebibbikosi ebisuula amaggi gokka,obupiira obukaluba, oba ebisonsoko bya maggi biteeke mu bibbokisi ebibiikwamu.
10:5412:37Lya enkoko ezimanyidde okulya amaggi, enkoko zisale emimwa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *