»Ensobi ttaano enkulu ezisinga okukolebwa mu kutega emizinga «
Abantu bangi bategeka emitego egy’okukwatamu emizinga gy’enjuki ezisenguka naye bakomekereza tebazikutte olw’ensobi zebakola.
Okuteeka emitego mu sizoni enkyamu. Waliwo sizoni ezimanyikiddwa enjuki mwezisengukira era nga zawukana okusinzira ku kitundu eky’enjawulo. Bw’oteeka omutego gw’enjuki nga si sizoni ya njuki mwezisengukira, emikisa gy’okukwatamu emizinga giba mitono ddala era newoba ozikutte, emikisa gyazo okuwangala mitono nnyo. Olina okuteekayo emizinga gyo nga sizoni entuufu etuuse naye singa oba tomanyi sizoni ya bibinja ntuufu enjuki mwezisengukira mu kitundu kyo awo olina okwogera n’abalunzi b’enjuki mu kitundu kyo.
Ensobi endala
Obutayambusa nnyo mitego gy’ebibinja by’enjuki . Y’engeri esinga okutega ebibinja by’enjuki singa emitego g’ebibinja giba giri ku ttaka naye emikisa gy’okukwata ebibinja nga emizinga giri wansi mitono nnyo. Kiba kirungi okuwanika emitego egikwata ebibinja ku buwanvu obuli wakati wa fuuti 10 ku 15 ku muti omuterevu obulungi.
Nga teweyambisiza ekintu ekisikiriza. Waliwo ebintu ebisikiriza bingi nnyo ebisobola okweyambisibwa okusikiriza ebibinja by’enjuki mu mitego gyazo. Emu ku zo ye y’okukozesa ebisenge ebyasigalako omubisi okuva mu mizinga gy’enjuki emikadde n’endala ey’okukozesa ebyo ebisikiriza enjuki nga kisubi.
Obutateeka bibaawo mu mitego gyo. Kino tekikosa mbeera ya budde oba okukwata ekibinja ky’enjuki naye kijja kukossa emirimu gy’olina okukola ng’okwata ebibinja. Okweyambisa emitego egirina ebibaawo kiyamba okutaasa obudde n’amaanyi emizinga gy’enjuki emipya byegikozesa mu kuzimba ebisenge ebipya.
Okukozesa emitego egikwata enjuki emitono ennyo. Omutego ogusinga guba guweza liita 47 mu kipimo ekyenkanankana ne bbokisi empanvu oba bbokisi y’embaawo.