Ensobi ez’abulijjo abalunzi zebakola mu kuliisa ebyenyanja

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=mlOC6O_KHf8

Ebbanga: 

10:02:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Catfish Farm Enterprise
Okuliisa kitundu kya nkizo nnyo mu kulunda semutundu era kyetaaga okukolebwa n'obwegendereza okusobola okufuniramu ddala okuva mu mere wamu nokukendeeza okufirwa.
Okulya kutwala ebintu 70 ku 100 ku mbalirira y’okulunda semutundu era bwobna oyagala semutundu zo okukula obulungi, wetaaga okwewala ensobi ezikolebwa mu kuliisa. Ensobi esooka abalunzi gyebakola kwekuziwa emere eyitiridde nga wano abalunzi bawa ebyenyanja emere nyinji okusinga gyebyetaaga.  Mu kukiisa emere eyitiridde, wabawo okwonoona  emere n’olwekyo olina okukeberanga emere gyowa ebyenyanja buli kaseera era eno yeyongera buli ekyenyanja lwekikula. 

Ensobi endala mu kuliisa

Okuwa ebyenyanja  emere entono. Kino tekikosa bukosa sente zitekebwamu naye n’ebyenyanja byenyini. Bwotabiwa kukuta, ebyenyanja bitwala ebbanga ddene okutuuka ku buzito era kyeretawo n’embeera y’obusezi  nga ebyenyanja birya binabyo kulwebula ly’emere. 
Okulisa mu budde obukyamu. Ebyenyanja birina obudde webyagalira okulya era nga nobusobozi bwokugaya buli waggulu. Okuliisa ebyenyanja mu budde obukyamu kiretera emere esinga obutalibwa nolwekyo neba nga eyononeka. 
Okuliisa mu ngeri etakwatagana kwegamba kikulu okubeera n’enkola gyokozesa okuwa ebyenyanja emere. Abalunzi abasinga bagala okuyiwamu emere yona awantu wamu naye kino kikyamu nolwekyo kikulu okulaba nga ebyenyanja byona birya mu kiseera kimu. 
Endiisa embi nga owa ebyenyanja emere ey’empeke enene  okusinga byegyetaaga. Kino kiretera ebyenyanja obutalya era kino kikosa enkula y’ebyenyanja mu ngeri embi. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:30Amagezi agamala ate nga matuufu ku ndiisa getagisa mu kuliisa ebyenyanja.
02:3104:20Okubiwa emere eyitiride kiretera okugyonona.
04:2106:40Obutabiwa mere ebikusa kikosa enkula y'ebyenyanja.
06:4107:35Okulisiza mu budde obukyamu kikosa engeri ebyenyanja gyebikulamu.
07:3608:28okuyiwa emere ku kifo kimu nkola mbi mu kuliisa.
08:2909:35Okuwa ebyenynaja empeke enene esinga ebyenyanja gyebirya kikosa enkula yabyo.
09:3610:02okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *