Abalimi banji balunda embizzi ntonotono nga za kusala, oba olw‘abwaanabazo oba okutunda mu butaale bw‘ebibuga.Embizzi ezimu zisibwa ku miguwa mubudde bwemisaana ate ekiro neziyimbulwa okutayaya.
Embizzi ezitayaya zandikwatibwa mangu nnyo enddwadde, ebiwuuka ate bweziba nga nto, zandilumbibwa embwa oba ensolo z‘omusiko. Nolwekyo bwoba olunda embizzi nga buzinesi kyamugaso ozikumira mu nnyumba.
Emiggaso
Omulimi ayanguyilwa okwekebejja n‘okumanya bungi bw‘meere eba eliriddwa embizzi nate ela kitanangira embizzi okwonoona ebirime.
Kunguyira omuntu okuwa embizzi amazzi g‘okunywa wamu n‘emeere, okwekenenya enkula y‘embizzi, kyanguwa okunganya obusa wamu nokutangira endwadde.Ennyumba ziziyamba okufuna ekisikilize okusobola ozikuma obutokyebwa kasaana ate neera bikuma ebugumu ly‘embizzi nga kakamumu obutazisumbuwa.
Enzimba y‘ebiyumba
Nga ozimimba enyumba y‘embizzi kakasa nti akasaana kayingiramu ku makya nakawungezi nayenga sikangi okuziyiza okwokya ennyo.
Ekitundu ku kiyumba kirina okubelanga kiri mu kasaana oba nga kikirizisa embizzi okufumako nezigalamira okufuna kukasana bw‘ezibazagadde.
Ekiyumba kirina okuba n‘ebitundu bibiri, wezebaka ne wezirira. Ekifo mwezinywela kitekebwa mukifo kya wabwelu embizzi jezifuka n‘okusula obussa.
Okusalawo kw‘ebikozesebwa mu kuzimba
Enyumba y‘embizzi esobola okuba eyembawo nga elina empagi nnya oba okusingawo ezigiwanirira okuva ku ttaka. wansi wayo wakolebwa mu mbawo ezipamiddwa. Amabanga mu mbawo ezigattidwa tegalina kusuuka 2cm okukirizisa omusulo n‘0bussa okugwa ku ttaka amangu okunganyizibwa.Ebiyumba ebirina fulowa ekoleddwa mu nkokoto, fulowa elina okuba nga eselengetamu okuyanguya enongosa yabyo. Ebiyumba bisobola okukolebwa mubukutta mukifo ky‘enkokoto. Ebisimbisibwa ng‘amatafaali gakozesebwa okuzimba ebisenge bye nnyumba, Ebisenge birina okubeela n‘emiwatwa egiyingiza empeewo n‘ogifulumya n‘okuma embizzi nga mpewevu.Ebanga wakati we kisenge n‘akasolya lirina okubawo okukirizisa empeewo otambula obulungi. Ebanga lino lwandibadde lya 1m mubusimba. Amabaati oba ebisikirizze by‘emiti bisobola okw‘eyambisibwa mukuseleka.
Obunnene by‘ekiyumba businzira ku bungi, ekiika ne emyaka j‘embizzi.
Omujulirizo kumalako embizzi emirembe, tezikula ate zandikwatibwa mangu endwadde.
Embizzi enkazzi eyawulwa okuva ku bwaana bayo ate neera nennume nazo zawulwa.