Ennyumba ya ddiguli 360 ey’ekyuma embizzi mwe zizaalira – embizzi ezizaalira munda nga zeetaaya.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=CfmsgC87GQA

Ebbanga: 

00:06:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

GE Baker
Enteekateeka y'ennyumba ey'ekyuma eya ddiguli 360 embizzi mwe zizaalira ewa ekifo ekimala era esobozesa embizzi enkazi okubeera n'eddembe eryetaaya mu nnyumba eno ate nga mu kiseera kye kimu kiyamba okuziyiza embizzi okwebakira obubizzi obwakazaalibwa. Enteekateeka wansi w'ennyumba eno efaanana n'ennyumba ya bulijjo era yaweebwa awaadi y'enkola ennungi mu mbizzi enkazi okuva mu Compassion In World farming (CIWF).

Olw’okuba nga ziwa ekirungo ekizimba omubiri, omutindo n’obungi bw’ebiva mu mbizzi birabibwa okusinziira ku mutendera n’ekika kya tekinologiya akozesebwa mu kulunda. 

Nga embizzi ziyingizibwa mu nnyumba ennyonjo era enkalu, teekawo ebyokweyalira by’ebipapula era oteekeko ettaala ya kiragala mu nnyumba mu ssaawa nga 48 nga tezinnazaala. Embizzi bw’etandika okuteekateeka aw’okwalira obubizzi obuto, waliwo obwetaavu bw’okuteekamu ebipapula ebirala.
Endabirira y’embizzi ezizaala
Ekisooka, embizzi enkazi eyazaalako oba etazaalangako ezaala ng’ennyumba nzigule bulungi esobole okulonda wa weewulirira emirembe okuzaalira era yongera ng’olemesa embizzi okutambula bweyeekyanga okukuuma obubizzi obuto era bw’ekkakkana, ddamu oggulewo ekifo. Lambula era owandiike ebikwata ku luzaalo.
Okufaananako, embizzi enkazi eteekebwa mu kikomera era enkola bw’eggwa, ennyumba eggulibwawo era okuzaala bwe kuggwa, yawula obubizzi obuto. Ku nsonga y’ebyobulamu n’obukumi, ennyumba ezaalirwamu eggalibwa era obubizzi obuto bwawulibwa ku maama waabwo buli kadde mu wiiki. Mu bubizzi obungi, kya nkizo okutwala obubizzi eri embizzi enkazi endala era okukuuma obubizzi, sooka oggalewo ennyumba mwe zizaalira.
Ennyumba y’ekyuma eya ddiguli 360 embizzi mwe zizaalira eteekebwateekebwa okukuuma obubizzi obuto era esobozesa embizzi enkazi okuba n’eddembe eritambula era mu kino, waliwo obwetaavu bw’okwetegereza embizzi enkazi nga yeebaka wansi oluvannyuma lw’okulya okusooka ng’emaze okuzaala. Enkola za bulijjo mulimu okukebera eby’obulamu bw’embizzi enkazi n’obubizzi obuto era akabizzi akato keetaaga okukeberebwa oba okujjanjabibwa ku bukuumi bw’ezo enkosefu.
Okwongerako, obujjanjabi bukolebwa nga obubizzi obuto buggibwa ne buteekebwa ku ccupa ejjanjaba era buzzeeyo ng’omaze okubujjanjaba nga buli nnyumba ekeberebwa buli lunaku n’okuyonjebwa. Eby’okweyalira by’ebipapula biggibwamu ne bisikizibwa omuddo omukalu oluvannyuma lw’essaawa 48 era omuddo gukyusibwa buli lunaku. Emmere ennyonjo eweebwa obubizzi obuto nga tebuli na maama waabwo era embizzi enkazi ziweebwa emmere mu mpalo emirundi esatu olunaku.
Ebirambe by’emmere bikendeezebwa buli lunaku okusinziira ku bwagazi bw’okulya era embizzi enkazi yeetaaya nnyo mu nnyumba y’ekyuma eya ddiguli 360  era okulya kweyongerako ebitundu 10%. Ekisembayo, embizzi enkazi ziggibwa mu nnyumba za ddiguli 360 obubizzi obuto ne bulekebwamu era oluvannyuma obubizzi obuto nabwo buggibwamu mu ngeri ennyangu ng’oggulawo ekikomera.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:39embizzi ziyingizibwa mu nnyumba ennyonjo era enkalu.
00:4001:05teekako ettaala ya kiragala mu nnyumba mu ssaawa nga 48 nga tezinnazaala.
01:0601:21Embizzi bw'etandika okuteekateeka aw'okwalira obubizzi obuto, waliwo obwetaavu bw'okuteekamu ebipapula ebirala.
01:2201:49embizzi enkazi eyazaalako oba etazaalangako ezaala ng'ennyumba nzigule bulungi.
01:5001:58lemesa embizzi okutambula bweyeekyanga okukuuma obubizzi obuto.
01:5902:07Bw'ekkakkana, ddamu oggulewo ekifo.
02:0602:28Lambula era owandiike ebikwata ku luzaalo.
02:2902:40embizzi enkazi eteekebwa mu kikomera era enkola bw'eggwa, ennyumba eggulibwawo.
02:4102:49okuzaala bwe kuggwa, yawula obubizzi obuto.
02:5003:02Ku nsonga y'obukumi, ennyumba ezaalirwamu eggalibwa.
03:0303:14Eccupa egabirira ekozesebwa bweba yeetaagisa ku bubizzi obunafu.
03:1503:23obubizzi bwawule ku maama waabwo buli kadde mu wiiki.
03:2403:33Mu bubizzi obungi, kya nkizo okutwala obubizzi eri embizzi enkazi endala.
03:3403:50okukuuma obubizzi, sooka oggalewo ennyumba mwe zizaalira.
03:5104:05Ennyumba y'ekyuma eya ddiguli 360 embizzi mwe zizaalira eteekebwateekebwa okukuuma obubizzi obuto era esobozesa embizzi enkazi okuba n'eddembe eritambula.
04:0604:14weetegereze embizzi enkazi nga yeebaka wansi oluvannyuma lw'okulya okusooka ng'emaze okuzaala.
04:1504:24Enkola za bulijjo mulimu okukebera eby'obulamu bw'embizzi enkazi n'obubizzi obuto.
04:2504:44embizzi enkazi n'obubizzi obuto bwetaaga okukeberebwa oba okujjanjabibwa ku bukuumi bw'ezo enkosefu.
04:4504:58Ennyumba ezizaalirwamu zonna zikeberebwa ne ziyonjebwa buli lunaku.
04:5905:06Eby'okweyalira by'ebipapula biggibwamu ne bisikizibwa omuddo omukalu oluvannyuma lw'essaawa 48.
05:0705:22omuddo gukyusibwa buli lunaku.
05:2305:30Emmere ennyonjo eweebwa obubizzi obuto nga tebuli na maama waabwo.
05:3105:34embizzi enkazi ziweebwa emmere mu mpalo emirundi esatu olunaku.
05:3505:40Ebirambe by'emmere bikendeezebwa buli lunaku okusinziira ku bwagazi bw'okulya.
05:4105:50embizzi enkazi yeetaaya nnyo mu nnyumba y'ekyuma eya ddiguli 360 era okulya kweyongerako ebitundu 10%.
05:5106:23embizzi enkazi ziggibwa mu nnyumba za ddiguli 360 obubizzi obuto ne bulekebwamu.
06:2406:30oluvannyuma obubizzi obuto nabwo buggibwamu mu ngeri ennyangu ng'oggulawo ekikomera.
06:3106:43Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *