Okufukirira kwa mugaso nnyo mukulima naddala ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde ekyuka ennyo ensangi zinno.
Okufukirira kuyamba ku nfuna y’emmere mu biffo ebitandibadde mu mmere emmala.Amazzi agakozesebwa mu kufukirira gava nzizi ezawansi ne mu migga ,mu nnyanja , mu biyiriro newegaterekebwa. Enkola y’okufukiria esinga okozesebwa yeyokozesa mukoka,okufukirira nga okozesa empiira,okufukirira kw’okutonyeza amazzi n’okufukirira okukolebwa wansi mu ttaka.Okufukirira okukolebwa wansi mu ttaka kwazuulwa nga kuleetera ebimera okufulumya amazzi mu ngeri y’omuka era n’okuleeta wo olunnyo mu ttaka ekiretera ettaka okwononeka.
Enkozesa y’amazzi ennungi
Okwongera ku nkozesa y’amazzi ennungi,olina okukendeeza ku kufiirwa kw’amazzi ng’okozesa enkola ezikulambikiddwa n’obubaka obuva ku tekinologiya kubanga ekitono ennyo ebitundu 50 ku kikumi eby’amazzi bye bifiirwa singa tuba tufukirira,nga kino kiva ku kuttonnya kw’amazzi awamu n’okumansuka.Kinno kisobola okomekerezebwa singa okufukirira tuba tukukolera mu budde okugeza ng’ekiro ng’ebbugumu ttono.Obubaka obuva ku tekinologiya tuyinza obukozesa okulongoosa enfukirira .
Osobolo okutumbula ku busobozi bw’ettaka okusobola okukuuma amazzi ng’ettaka olyongera mu nakavundira.
Okusunsula ebiriime kwamugaso nnyo mu nsonga y’okukekereza amazzi.Ebirime ebimu birina obusobozi bw’okufuna amazzi okuvva mu ttaka wansi nga muno mulimu omuwemba n’ebirala.Ebirime ebyonoona amazzi ng’ebikajjo birina okwewalibwa mu biffo omuli ebbula ly’aamazzi.
Amazzi gafune okuvva mu kulembeka ng’enkuba ettonnye oba okuva mu kudamu okukozesa amazzi agaakozeseddwa edda okusobola okufukirira ebitundu ebirimu kiragala mu kibuga awali okwonoona ennyo amazzi.