Okuluna enkoko kyafuuka mulimu oguvaamu ensinbi ogumannyiddwa nnyo mu maka agasinga obungi mu Africa nga enkoko ez‘ennyama zirundibwa olw‘ennyama zaayo.
Bwoba ozimba ekiyumba ky‘enkoko, egoberera y‘obudde kintu kiulu nnyo era kikubirizibwa/Kiragibwa nti wandizimbye ekiyumba kino ng‘okijja enjuba kyeva ng‘odda enjuba gy‘eggwa ng‘obuwanvu bw‘ekiyumba kigoberera entabula y‘enjuba gy‘eva ne gy‘eggwa. Kino kiyamba okuba nti bulijjo enjuba okubeera waggulu wa kasolya k‘ennyuba okuziyiza ekitangaala ky‘enjuba/omusana nga bweguva waggulu okuyingira mu nnyuba busimbalala.
Ebikubirizibwa mu kuzimba ekiyumba ky‘enkoko
Bwoba ozimba ekiyumba ky‘enkoko, zimba ekisenge kimu kyakubiri ekya mita nga weyambisa amatafaali/bulooka okwetoloola obuwanvu bw‘ekisenge ate okuva ku matafaali/mabulooka gano okudda waggulu weyambise akatimba. Okwetoloola obugazi, zimbawo ekisenge ekigumu ng‘oviira ddala wansi okutuukira ddala waggulu.
Kubako pulasita ku kisenge okwanguyiza omulimu gwo kusiimula n‘okufuurira. Akatimba akeyambisiddwa mu buwanvu ku njuuyi zombi kalina okuba n‘obutuli mubugazi nga bwa 10mm okuziyiza ebinnyonyi oba emmese okuyingira mu kiyumba ky‘enkoko kubanga bino bisaasaanya obulwadde obuyitibwa salmonella.
Singa ekiyumba ky‘enkoko kiwedde okuzimbibwa nga kigoberera obikiikakono n‘obukiikaddyo, tekawo ebbaati erirengejja okuziyiza omusana/ekitangaala ky‘enjuba okuyingira mu kiyumba obusimbalala.
Endabirira y‘obukoko obuto
Mu by‘okusula /okwebaka , kirungi okukozesa obukutta bw‘embaawo kubanga buno bunywa amazzi ate nga singa buba bubikiddwa wansi nga sentimita kkumi (10 cm) kiwa obukoko okweyagala era kiyamba okukuuma ebugumu mu kiyumba kubanga obunyogovu obusinga buva wansi ku ttaka /sementi/fuloowa..
Singa obukoko buyiwa amazzi wansi okwetoloola webunywera, ggyawo obukuta obutabye ozeewo obukuta obukalu/obupya.
Nga obukoko bwe bukula, tewuluzaamu mu binywero by‘amazzi n‘ebiriiro by‘emmere okukakasa nti obukoko bulya era bunywa bulungi awatali mutawana. Tekawo amabanga agamala agalirwamu n‘okumyweramu amazzi nga gakolebwa ekinywero kimu n‘ekiriiro kimu buli bukoko ataano okuziyiza okusojjagana.