Ensolo ez‘olulyo olwaddala zivamu amagoba mangi ate zanguwa okukula okusinga ennansi naye abantu batya okuzirunda kuba balowooza nti nzibu nnyo.
N‘endabirira ennungi, embuzi zisobola okubeera mu mbeera zonna mu Africa n‘okusingira ddala mu Uganda. Embuzi ezirina olulyo olwaddala zisobola okubeera mu kiyumba kye kimu nga ennansi. Kino kiyamba omulunzi okulunda embuzi ez‘ebbeeyi mu ngeri ennyangu.
Endabirira y‘embuzi ezirina olulyo olwaddala
Kakasa nti oliisa bulungi ensolo ku mmere erimu ebiriisa okusobozesa ensolo okukula obulungi.
Nga olunda embuzi ez‘okutunda, kakasa nti ofuuyira era otta ebiwuka mu nsolo zo. Okufuuyira kulina okukolebwa lwakiri omulundi gumu buli wiiki wabula ate bwoba otta ebiwuka kikole lw akiri omulundi gumu buli luvanyuma lwa myezi essatu naddala mu mbuzi enkulu ate obubuzi buto tta ebiwuka waakiri omulundi gumu mu mwezi.
Gema ensolo nga ogoberera olukalala lw‘okugemerako era tolinda bulwadde kubalukawo nga tonaba kugema.
Ensonga enkulu
Nga otandiika okulunda embuzi ennansi, kikubirizibwa okubeeramu n‘ennume ey‘olulwo olwaddala okusobozesa obubuzi obuto okuba n‘olulo olulongosemu nga zirina ekikula ekirungi
N‘endabirira ennungi osobola okulunda olulwo lwonna olw‘embuzi eyinza okuba ennansi oba ey‘olulyo olwaddala.