Ennima y’omuceere ekitundu ekisooka

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=o1IKKKVRV-0

Ebbanga: 

00:06:36

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

royaldreamtv
»Akatambi kano kalaga ennima y'omuceere mubitundu ebirimu omusana. Kakuyisa mukusimba, entangira y'omuddo, entangira y'enddwadde n'ebitonde eby'onoona ebirime. Omuceere(Oryva Sativa) gulimibwa mubitundu ebifuna omusana era kulimwa mubitundu byentobazzi. Eggwanga lya Nigeria lyerisinga okulima omuceere mubugwanjuba bwa Afirica. Kitwaala ennaku 110-180 okuva mukusimba okutuusa mu kukungula. Omuceere gwetaaga ettaka eriyina obusobozi bw'okutereka amazzi nga ettaka lye bbumba. Omuceere gulina byombi ogwo okgulimwa ku lukalu wamu n'ogwo ogw'omuntobazzi. Enimiro y'omuceere elongoosebwa era n'ekabalwa okusobola okusseteera. Kubifo ebiregamya amazzi, emifulejje gyiyina okutemebwa okusobola okukakasa engabana y'amazzi kyenkanyi ekiziyiza okukuluguka kwe ttaka w'amu n'ebiriisa mu ttaka. Omuceere gusimbibwa na nsigo. Zisobola okumansibwa(okusimbibwa obutereevu mu nimiro) oba okusimbibwa mu merezo oluvanyuma nezisimbibwa mu nimiro. Omuddo guyina okutangirwa nga weyambisa byombi eddagala eritta omuddo nga ekirime tekinamera wamu n'eryo eritta omuddo nga ebirime bimaze okumera. Kozesa ebika ebigumira enddwade okusobola okukendeeza kukulwaala mu nimiro yo. Kozesa ekirungo kya Nitrogen omulundi ogusoba mu gumu mukulima. Simba ensigo ezitekeddwamu eddagala.«
  Omuceere kirime ekirimwa mubitundu ebirimu omusana era nga kikulira mubifo omulegama amazzi era nga kyetaaga ebbugumu lya 20-30 degrees ku ttaka ery’omuseetwe. Mungeri endala omuceere gw’okulukalu tegwetaaga kukabala nga bwokuba amafunfugu.
Kiyina okutegerebwa nti omuceere gw’okulukalu gukula mangu era tegwetaaga nteekateeka ya ttaka y’amaanyi ekitali kw’ogwo ogulimwa mukiwonvu newankubadde nga kisaanye okulima omuceere ku ttaka lye bbumba kubanga gwetaaga amazzi mangi ate nga ettaka lye bbumba liyina obusobozi bw’okutereka amazzi. Emitendera mukukula kw’omuceere ejenjawulo gy’etaaga amazzi mungeri yanjawulo omuceere nga gwakamera gwetaaga amazzi ago agamala mukukula naye amazzi mangi getaagibwa nga omuceere gukuliddde ddala okwongerako ebitundu ebitayina enkuba entono kozesa ekika ky’omuceere ogulimwa ku lukalu.
 

Enkola ezisaanide

Sooka olongoose enimiro, zimba ebidiba egikozesebwa mukukuuma amazzi olwo okabale lima era oteme emyaala okusobola okutangira okukalira kw’amazzi, kyanguya mukusimbuliza, kikendeeza mu kukula kw’omuddo, era n’okutwaala omukka omulamya mu ttaka ely’okungulu.
Mukugattako tangira enddwade ez’amaanyi nga blast, brown spots ne green discolouration okuyita mukukozesa ensigo ezitamala galumbibwa birwadde bino, enkola ennungi okusobola okumalawo obuladde bwa blast rust, kendeeza ku kukozesa ekirungo kya nitrogen ekirimu ekirungo kya potassium okusobola okukendeeza ku kulumbibwa kwekirwadde kya blast, kozesa ensigo ennyonjo ezitekedwaamu eddagala okutangira obuwuka obw’onoona ensigo era n’ensigo wezirumbibwa amangu enddwade eziretebwa obuwuka obusirikitu obwa fungi fuyira nga weyambisa eddagala erikulagibwa.
N’ekisembayo abakozi bwebabeera nga babeeyi kozesa enkola y’okumansa ensigo naye kiyinza okuziyiza okumeruka singa ensigo eggwa ku ttaka eddala olwebula ly’omukka omulamya ekitafaananako nga abakozi balayisi nga weyambisa emikono simbuliza naddala kumuceere ogulimiddwa mulutobazzi kozesa amabanga ga 30x30cm okuziyiza okumera kw’emiddo n’okuziyiza okumeruka kwamatabi amalala.
 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Omuceere gusinga kulimibwa naddala mubifo by'entobazzi ku bbugumu lya 20-30 degrees era nga gutwaala ennaku 110-180 okukula.
00:3100:57Gusinga kulimibwa bulungi ku ttaka eryebbumba era obwetaavu bwa amazzi bukyuuka okusinziira ku mitendera mukukula.
00:5802:43Kuly'omuceere ogulimibwa mu lutobazzi, longoosa enimiro, ozimbe ebidiba, lima era oteme emyaala.
02:4402:59Omuceere gw'okulukala tegwetaaga kuteekerateekera nnyo.
03:0003:20Mubitundu omutali nkuba emala kozesa omuceere gw'okulukalu ate eri ebifo by'olutobazzi kozesa ebika ebirala.
03:2104:13Tangira enddwade enkulu nga blast, brown spots wamu ne green discolouration.
04:1404:40Fuuyira nga weyambisa eddagala erikulagiddwa mubifo ebirumbibwa ennyo enddwade eziretebwa obuwuka bwa fugi.
04:4105:01Abakozi bwebabeera nga babeeyi kozesa enkola y'okumansa ensigo naye kiyinza okuziyiza okumeruka.
05:0205:27 abakozi balayisi nga weyambisa emikono simbuliza naddala kumuceere ogulimiddwa mulutobazzi kumabanga ga 30x30cm.
05:2806:10Kumuceere gw'okulukalu, simba nga enkuba nyingi ate eri ogw'omulutobazzi nga waliwo amazzi g'okufukirira agamala.
06:1106:36okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *