Ku Eco Makaa solutions, bakyusa ebisigalira okuva mu birime ebisobola ofumbisibwa n‘okuvaamu amasanyalaze nga bakolamo amanda agakoleddwa mu lusenyente.Omuntu omu asobola okukyusa ebivudde mu butonde nga akolamu amanda okuva mu lusenyente era naasobola okukuuma obutonde okuva eri ebi bwonoona mu kiseera kye kimu.
In order to start producing briquettes, Bwoba oyagala okutandika okukola amanda okuva mu lusenyente, olina okwesigama ku nsonga zino wammanga. Esooka byogenda okukozesa n‘ekika ky‘ebiva mu birime ebisobola ofumbisibwa n‘okuvaamu amasanyalaze byolina okukozesa kuba sibuli kivudde mu butonde nti kikozesebwa. Ey‘okubiri, omuntu alina okunoonya ebyuma ebyetaagisa okukola n‘okulabika kwabyo. Ekisembayo olina okuba n‘entandikwa era nga kino kya mugaso nnyo ng‘otandika bizinesi.Entandikwa osobola okugijja mu ssente z‘obadde otereka,emikwano oba okwewoola. Aba Eco makaa solutions batendekera bwereere okusobola okutumbula embeera z‘obuntu.
Emitendera egiyitwamu okukola amanda okuva mu lusenyente
Omutendera ogusooka ogw‘okukolamu amanda okuva mu lusenyente eyokwokya. Eno y‘enkola eyo kwokya ebiva mu butonde era bino biba ne langi ya kittaka newankubadde amanda agakoleddwa okuva mu lusenyente gaba maddugavu.
Oluvanyuma lw‘okwokya, ebikozesebwa bikunguntibwa okusobola okufunamu olusenyente olwokyebwa n‘obususunku bw‘omuceere.Obususunku bw‘omuceere bugatibwa nate mu lusenyente era oluvanyuma lw‘okugatibwa gattamu akaloddo (molasses) kasobole okwekwatta obulungi.Omutendera gwo ku kakola gwe guddako era wano bufulumizibwa mu buwanvu obutuufu okuva mu kyuma
Okwongera okulabirira
Amanda amabisi agakoleddwa okuva mu lusenyete bagatuuma mu ntuumu oluvanyuma lw‘okugakola olwo ekivuddemu eky‘enkomeredde nebakyanika ku butandaalo. Amanda gano agakoleddwa okuva mu lusenyente gatwala wakati w‘ennaku 2 ku 3 okukala nga gateekeddwa mu kasana
Amanda gano amabisi galibwa mu layini nga galinanye ganaago kisobozese omusana okugatuukako nga gali mu kifo ekitono ddala.The Ekirungo ekikozeseddwa okugatta amanda agakoleddwa okuva mu lusenyente zigayamba obutamenyeka era n‘ekyuma kikola kinene nnyo kukugaggumya.
Ebika eby‘ebirime ebirala ebyeyambisibwa mu kukola amanda okuva mu lusenyente
Tebuvaamu mukka, bwokya n‘okusinga amanda era nga tegakossa butonde kubanga tegavamu mukka. Gakekkereza ensaasaanya naddala mu by‘ensimbi era gaaka okumala essaawa mukaaga.
Abatandisi ba Eco makaa solution bakubiriza abavubuka naddala abannakenya , abakazi n‘abantu abatakola okweyunga ku Eco makaa bayige engeri y‘okukolamu amanda okuva mu lusenyente agali ku mutindo era bagaba ebyuma okusobozesa okutandika omulimu ogwo.