Okulima obutunda«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=JWM9xa2dscI

Ebbanga: 

00:16:10

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Enock S Bamulanzeki
»Mukatambi kano mulimu obubaka obukwata kunima y‘obutunda mu Uganda.«

Okutandika okulima obutunda kyangu nnyo kubanga tebwetaagamu nnyo sayansi. Ekirala obutunda tebwetaaga kulabirira buli kiseera.

Obutunda bulimu ebika bina nga muno mulimu obwo obwa kakobe, obwakyenvu obukaluba obuyitibwa „sweet granadilla“ wamu ne wuju. Okwetangira endwadde obulungi mukulima obutunda sooka okune okuwabulwa kunima y‘obutunda okuva kubalimi bobutunda abagundiivu wamu nabalimisa mukitundu kyo. Obutunda bulumbibwa nyo ekirwadde ekiyitibwa „fungal“ nga kino kibabula ebikoola wamu n‘okuvunza endu y‘ekimera.

Emitendera Mukulima obutunda

Tandika okulima obutunda ng‘okozesa ensigo ezomutindo omulungi okuva mumatundiro g‘ebyobulimi agesigika. Ng‘omaze okusimbuliza obutunda endokwa zisiimbe ku ttaka eggimu ate nga teriregamamu nnyo mazzi.

Ekirala bw‘oba osiimba obutunda lekawo obugazi bwa mita ssatu ku satu okuva kukikolo ekimu okuda kukirala kubanga kino kiyamba ekimera okufuna ekiriisa ekimala olwo nekisobola okula obulungi. Kakasa nga ebimera bifuna ekitangaala ekimala kino kikendeeza kunsasana y‘obulwade obuyitibwa „fungal“.

Siimba endokwa z‘obutunda mukinya kya buwaanvu bwa fuuti satu okusobola okuwa akatunda ekifo ekimala okula obulungi.

Endabirira y‘obutunda

Kakasa nga okoola omuddo bulungi, wamu n‘okufukirira obutunda. Ekirala bika bulungi omuddo munimiro y‘obutunda olwo kibusobozese okula obulungi.

Akatunda bwekaweza obuwanvu bwa mita satu teekako akatimba akatunda kekanalandira obulungi olwo kasobole okuwa amakungula amangi.

Ffukirira bulungi obutunda wamu n‘okutandira endwadde bino biyamba obutunda obutaffa. Also irrigate fruits and control diseases to prevent passion fruit plants from drying.

Buli luvannyuma lwa nnaku 7 ku 14 fuyira obutunda ng‘okozesa eddagala etuufu okwewala endwadde wamu n‘obuwuka obulala obutataganya ekula y‘obutunda.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:22Mubika byoutunda mulimu mulimu obwa kakobe, obwakyenvu obukaluba, wamu ne wuju.
01:2302:25Ebigobererwa ng‘otandika: Kola emerusizo y‘obutunda ng‘aweyambisa ensigo ennungi okuva mumaduuka g‘ebyobulimi agesigika.
02:2603:36Gatta ekika kyakatunda ekimu kukirala wamu n‘okusiimba obutunda obusimbuliziddwa ku ttaka eggimu ng‘ateriregama mu mazzi.
03:3706:38Siimba obutunda mubugazi bwa mita ssatu ku satu okuva kukikolo ekimu okuda kukirala kya mukinya kya buwaanvu bwa fuuti satu.
06:3908:23Endabirira y‘obutunda: Koola omuddo bulungi, fukirira obutunda wamu n‘okubikka bulungi omuddo munimiro y‘obutunda.
08:2410:51Akatunda bwekaweza obuwanvu bwa mita satu teekako akatimba,Ffukirira bulungi obutunda wamu n‘okutandira endwadde.
10:5212:38Buli luvannyuma lwa nnaku 7 ku 14 fuyira obutunda ng‘okozesa eddagala etuufu. Funa amagezi kunima y‘obutunda okuva eri abalimisa.
12:3916:10Okisiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *