Ebinazi birimu amagoba mangi olw’ensonga nti biwangala okumala emyaka nkaaga (60) nga bifunwamu ensiimbi ate buli kitundu ku mutti kyamugaso nnyo
Ebinazi kirimu butto mungi ali ku kipimo kya bitundu 60 ku kikumi(60%) okutuuka ku bitundu 70 ku kikumi (70%) era omulimi awebwa amagezi okuwa amabaanga ebinazi ku kipimo kya 7.5m ku 7.5m.Ebiseera ebisinga ebinazi birina okusimbibwa ng’endokwa ziwezeza omwaka gumu nga zifunnye bulungi enkuba emmala.
Emitendera mwoyita okusimba ebinazi
Tandiika na kutema ekinnya nga kiri ku bugazi bwa 1.2m ku 1.2 m ate ekipimo kya 1.2m ku ttaka eritatuukiridde bulungi.
Ebinnya bijuze ettaka eriwewuka,obusa bw’ente ku bbuwanvu bwa kipimo kya 60cm.Olumala gatamu ebisigaliraa by’ekinazi wansi mu kinnya okusobola okukuuma obuweweevu bw’ettaka.Mukwongerako, mansa mu eddagala eriyitibwa bhc 10% waggulu w’ebisigalira ku kinazi okusobola okwewala enkuyege.Era ne muttaka erikaluba gattamu kiro bbiri (2kg) ez’omunnyo okusobola okugonza amafunfugu.
Endabirira n’okukungula
Kakkasa nti bulijjo oteeka mu nnimiro yo ebigimusa okusobozesa ebirime byo okubala obulungi,era kakasa nti odingana okulima mu nnimiro era oseemu ebidiba ebimpi.Mu kwongerako,ennimiro gisimbe mu ebirime ebirala okusobola okozesa obulungi ennimiro yo era nga wogifukirira.Kakasa nti buli kadde oteeka ebigimusa mu nnimiro yo okusobola okufuna amakungula amalungi.
Nga tufundikira,okusobola okufuna amakungula agawera,kungula mu bbanga lya myezi 12 nga omazze okusimba