Ennima y’ekigajji ey’obutonde

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=SP3ujNzgdZk

Ebbanga: 

00:10:30

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agri Farming
Ekigajji kirime ekimanyikiddwa nga eky'eddagala era nga kigwa mu kika ekiyitibwa Lilaceae. Ekigajji kirimibwa okusukka omwaka nga kirina ebikoola birina omubisi n'okukola eddagala . Kirina emigaso ntoko egimanyikiddwa eri obulamu bw'omuntu. Obulimi bw'ekigajji mu ggwanga lya India bugenda bumanyika nnyo kuba buleeta amagoba mangi singa kirimibwa ku yiika nnamba okusinga obulimi n'obulunzi obwa bulijjo era kisobola okulimibwa nga okozesa amazzi matono.

Ekigajji kirime ekimanyikiddwa nga eky’eddagala kuba kigwa mu kika ky’ebimera ekiyitibwa Liliceae. Ekigajji  kisukka omwaka gumu nga kirimiddwa kuba ebikoola byakyo bikola nnyo ng’eddagala.


 Kirina emigaso mingi nnyo eri obulamu bw’omuntu. Okulima ekigajji mu India  kugenda kumanyika nnyo kuba kuvamu amagoba mangi buli yiika okusinga obulimi n’obulunzi ebya bulijjo atera kyetaagisa amazzi matono nnyo. Obugazi  n’omutindo  gw’ettaka z’ensonga ezisinga okuteekebwa mu nkola nga oyagala okufuna amagoba ageyegaza okuva mu kirime kino. Okubaawo kw’ebintu ebikozesebwa ku faamu n’akatale aw’okututndira ekigajji gattako okumanya engeri gy’ogenda okukwasaganya bizinesi yo kintu kikulu nnyo.

Ebika eby’enjawulo

Ebimu ku bika by’ekigajji ebisinga okuba eby’omugaso mulimu; ekya tiger yellow, lace yellow, blue yellow tiger.
Ekika kya blue yellow tiger kiba kitono nga kigonda n’ebikoola ebiwanvu ebiweza inch 6.

Ekika eky’ekigajji ekya blue aloe kirina langi ya bbulululu atangaalijja era kiwanvu okutuusa inch 24. Ekika ky’ekigajji kino kyetaagisa amazzi agawera okukula nga kiggumu. Ekika ky’ettaka n’embeera y’obudde ebirungi bya mugaso nnyo mu bulimi obw’obutonde obw’ekigajji. Okubirizibwa okukozesa ebigimusa ebikoleddwa okuva mu butonde ku birime

Okufuukirira
Ekigajji kirime ekiggumira ekyeya noolwekyo  ekirime kisobola okubeerawo nga kifuukiriddwa kitono.  Wabula, obutafuukirira kirime kigajji kijja kukendeeza ku buwangaazi  bwakyo.  

Engeri y’okufuukirira ekirime ekigajji esinga ye y’okukifuukirira kyonna n’okuleka amazzi gakalire oddemu ofuukirire nga ettaka ly’okungulu likaze. Mu birime eby’eddagala nga ekigajji  ekirina ebivamu omubisi  ogunywebwa butereevu nga eddagala, okusimba obulungi n’okukifaako kikulu  nnyo     

Okuziyiza ebiwuka ebitawaanya ebirime
Ezimu ku nkola zeezo kuggyamu ebirime by’ekigajji  ebirumbiddwa obulwadde.  Osobola era okukozesa kamulaali, obutungulu ne katungulu ccumu asekuddwa n’omutabula mu mazzi oluvanyuma n’ofuuyira ekirime. 
 Osobola era okweyambisa ebiwuka eby’omugaso ebirya ebiwuka eby’obulabe. Ekimu ku byo kye kiyitibwa lady bug. Kungula ebikoola by’ekigajji oluvanyuma lw’okusimba mu myezi 7 ku 8 . Kozesa akambe akoogi mu kukungula era okikola n’obwegendereza okwewala okufirwa omubisi okuva mu kitundu ky’osaze.



Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:00Ekigajji kimanyikiddwa nnyo nga ekirime eky'eddagala era kigwa mu kika ky'ebimera ebiyitibwa Liliaceae. Ekigajji kirime ekisukka omwaka era nga kirimibwa olw'emigaso egy'eddagala gye kirina .
0:0101:35Obugazi bw'ettaka okulimibwa ekigajji kye kimu ku bintu by'olina okuteeka mu nkola okusobola okufuna amagoba ageyagaza mu kyotaddemu.
01:3602:20Ebimu ku bika by'ekirime jye kigajji ebisinga obukulu mulimu ekya : tiger yellow, lace yellow,ne blue yellow tiger.
02:2103:20Omutindo gw'ettaka n'embeera z'obudde bya mugaso nnyo mu nnima y'ekigajji ey'obutonde. Kozesa ebigimusa eby'obutonde ng'obusa mu kulima ekigajji
03:2104:00Ekigajji kikula bulungi mu mbeera z'obudde ezirimu ebbugumu eriweza diguli 25 ku 35 celsius era ekimera kirina okusimbwa mu kifo ekifuna akasana butereevu.
04:0105:25Simba ekigajji okuva mu nsigo naye kiba kyangu okusimba emittunsi egimeze okuva ku kigajji ekikuze.
05:2606:10Ekirime ky'ekigajji batera kusimba nduli nga ekuliddwa okuva mu ttaka. Enduli eno ekulibwa okuva mu ttaka , sala ekirime ekirina ennyingo ekitono ennyo 3 era ozisimbe mu mmerezo nga bwolinda okuzisimba.
06:1107:20Ebirime by'ekigajji biggumira ekyeya era bisobola okuwangaala nga bifuukiriddwa kitono. Wabula, bwotakifuukira kijja kukendeeza ku buwangaazi bwakyo.
07:2108:30Ekigajji olw'okubeera nti kirina omubisi kisobola okuwangaala nga tekifuukirirwa naye kikula bulungi nga kifuukiriddwa. Okufuukirira ennyo ekigajji kiraga nti oba okirabiridde bubi.
08:3109:40Ezimu ku nkola ezisinga okuziyiza ebiwuka ebitawanya ebirime naddala ebigajji yeeyo ku ggyamu ebirime ebirumbiddwa obulwadde oba okufuuyira ng'okozesa amazzi agatabuddwamu kamulaali, obutungulu n'ekatungulu ccumu asekuddwa.
09:4110:30Okukungula ebikoola by'ekigajji kutandiika mu myezi 7 ne 8 oluvanyuma lw'okusimba. Kozesa akambe akoogi era ofeeyo nnyo okuziyiza okufirwa omubisi okuva mu kitundu kyosaze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *