Engeri gye biwa ekiriisa ekizimba omubiri, ennima y‘ebijanjaalo ekendedde olw‘ouba ensigo ezimu zibeera n‘omutindo gwa wansi n‘ensonga endala. Wabula enkola ezirongooseddwamu zireeteddwa okukola ku bwetaavu bw‘abaguzi mu butale.
Ebijanjaalo biwa emmere n‘ensimbi eri abalimi. Kozesa ensigo z‘omutindo ezikakasiddwa, simba mu nnyiriri, kozesa ebigimusa ebiva mu kalimbwe n‘ebigimusa bwe bibaawo era oggyemu omuddo mu bimera buli lukya.
Okusimba mu nnyiriri kisobozesa ebijanjaalo okufuna ebiriisa, amazzi era oyongere ku makungula. Era kikendeeza ku budde kubanga okukungula n‘okulwanyisa endwadde kwanguwa. Tegeka ennimiro ng‘ogiroongoosa, okukabala n‘okugiseeteeza. Kola ennyiriri ku bugulumu bw‘ettaka okukendeeza mukoka w‘ettaka.
Okukola ennyiriri
Kozesa obuti obugumu bubiri n‘akaguwa akawanvu kamu. Siba akaguwa ku buti, busimbe bunywere mu ttaka. Lima ekinnya oba olukonko lwa sentimita ssatu ku nnya mu kukka.
Teeka olunyiriri oluddako ku sentimita 50 okuva ku ndala era olekewo ebbanga erimala ery‘okutabika ebirime.
Okuteekamu ebigimusa
Fuuyira ekipimo ekigere eky‘omugatte gw‘ebigimusa eby‘obutonde n‘ebikolerere ku mabbali g‘ekinnya era obikkeko ettaka ettonotono.
Teeka ensigo ku buli luvannyuma sentimita ttaano ne sentimita kkumi na ttaano okukka okusinziira ku bunene bw‘ensigo.
Ggyamu omuddo emirundi esatu buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ng‘onsimbye.