Ennima ya Cocoa esoboka eri abalimi ba Cocoa mu bugwanjuba bwa Africa

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=5f1H_DqqXiw

Ebbanga: 

00:10:30

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Infodormitory
Akatambi kano akatendeka ku nnima ya cocoa esoboba eri abalimi ba cocoa mu bugwanjuba bwa Africa kaakolebwa okuyamba abalimi ba cocoa okufuna obukodyo obupya obw'ennima ya cocoa esoboka mu bugwanjuba bwa Africa. Akatambi ku nnima ya cocoa esoboka eri abalimi mu bugwanjuba bwa Africa kaakolebwa mu ngeri y'okulaga enkola z'obulimi ennungi. Kino kya kwongera mutindo ku nnima ya cocoa mu bugwanjuba bwa Africa. Akatambi kano kakola nga eky'okuddamu eri abakozi ba faamu n'abalimi. Kalaga obubaka obukulu ku nkola z'okulima ennungi wamu n'obukodyo bw'okukungula n'ebikolebwa oluvannyuma lw'okukungula obwava nu kunoonyereza ku by'obulimi. Omulimu gwa maanyi ogwetaagibwa okukakasa ebiwandiiko ebyangu, ebituufu era ebisikiriza n'okulambika enkola z'okulima ennungi wamu n'obukodyo bw'okukungula n'oluvannyuma lw'okukungula. Mu katambi kano, eby'okugoberera bimalibwayo n'okwekenneenya kw'amagoba n'endabirira okufunamu mu kukozesa amagezi ago era n'okwongera amakungula ne ssente. Ku ludda olulala, akatambi kano kalaga emitendera emiteeketeeke obulungi mu kulima kwonna, ku ludda olulala, abalimi bakozesa enkola z'okulima ennungi wakati n'oluvannyuma lw'enteekateeka. Buli eyeenyigira mu nteekateeka zino afuna ow'okwebuuzaako. Akatambi era kakozesebwa okufuna ebikozesebwa ebirala nga okuteekebwa ku ebifaananyi, terefayina ne laadiyo.

Olw’okuba ekirime ekirimu ebiriisa ebingi, omutindo n’obungi bw’amakungula bulabibwa okusinziira ku mutendera gwa tekinologiya akazesebwa.

Olw’ensonga nti okulima cocoa kufunira abalimi ensimbi, simba endokwa empya nga ziri wala n’omuti gwonna omukosefu era salira emiti gya cocoa emiramu okufuna ebikalappwa ebinene kubanga ebiwuka n’endwadde tebirumba miti misalire.
Endabirira y’ebirime
Ekisooka, oluvannyuma lw’okukungula, salako amatabi agamu ng’ekirime tekinnamulisa era salira omuti obutawanvuwa okusukka mita 4 okusobozesa omuti okufuna akasana n’empewo n’okwewala obulwadde bw’amabala amaddugavu (black pod disease). Gula ebigimusa okuva ku kitunzi akkirizibwa oluvannyuma lw’okubala obungi bw’emiti era oteeke ku birime mu mwezi gumu ku mabanga ga mita 10 ku 10.
Okufaananako, kuumira ensawo z’ebigimusa mu kifo ekikalu nga kiyonjo, saawa omuddo ogwonoona ebirime emirundi esatu mu mwaka okulongoosa faamu era nga enkuba tennatandika, ggyako ebikalappwa ebivundu n’ebiriko amabala amaddugavu obyokye okukendeeza ku bulwadde. Teeka ebigimusa ku birime bya cocoa enkuba nga etandise era kebera ennimiro okuzuula obulwadde bw’amabala amaddugavu era fuuyira n’eddagala erifuuyira ebirime.
Lambula faamu buli kadde era okungule ebikalappwa ebyengevu buli wiiki bbiri ku ssatu era ennaku ssatu oluvannyuma lw’okukungula, yasa ebikalappwa era oyalirire endagala mu kisiikirize oteekeko ensigo za cocoa ezaakakungulibwa era entuumu ebikkibwako ndagala ezeetooloddwa embaawo.
Okwongerako, buli nnaku 2, bikkula entuumu, kyusa ensigo za cocoa era oluvannyuma lw’ennaku 6-7, entuumu gibikkulire ddala ogiteeke mu kasana ku mmeeza enkalu era kyusa ensigo lwakiri emirundi ebiri mu lunaku era oggyemu obukyafu bwonna. Ensigo zibeera nkalu singa zeeyasa ng’ozinyizeeko katono. Zibikkeko buli lweggulo oba mu nkuba, ensigo zibikkeko akaveera era kakasa nti ensigo za cocoa ezikaze teziwumba.
Ekisembayo, zitereke mu bukutiya obuyonjo obuteeke waggulu w’embaawo mu kifo ekikalu walako okuva ku bisenge.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:05Okulima cocoa kufunira abalimi ensimbi.
01:0601:40Simba endokwa empya nga ziri wala n'omuti gwonna omukosefu.
01:4101:47Salira emiti gya cocoa emiramu okufuna ebikalappwa ebinene.
01:4801:55Oluvannyuma lw'okukungula, salako amatabi agamu ng'ekirime tekinnamulisa
01:5602:07Salira omuti obutawanvuwa okusukka mita 4.
02:0802:34Gula ebigimusa okuva ku kitunzi akkirizibwa oluvannyuma lw'okubala obungi bw'emiti.
02:3503:12Okusimba cocoa, kozesa amabanga ga mita 10 ku 10 era teekako ebigimusa mu mwezi gumu.
03:1303:45Kuumira ensawo z'ebigimusa mu kifo ekikalu nga kiyonjo, saawa omuddo ogwonoona ebirime emirundi esatu mu mwaka.
03:4604:07Nga enkuba tennatandika, ggyako ebikalappwa ebivundu n'ebiriko amabala amaddugavu obyokye okukendeeza ku bulwadde.
04:0804:39Fukirira ebirime bya cocoa nga enkuba etandise.
04:4005:25Kebera ennimiro okuzuula obulwadde bw'amabala amaddugavu
05:2606:34Lambula faamu buli kadde era okungule ebikalappwa ebyengevu buli wiiki bbiri ku ssatu.
06:3507:00nnaku ssatu oluvannyuma lw'okukungula, yasa ebikalappwa era oyalirire endagala mu kisiikirize.
07:0107:12Teekawo ebisero bina eby'ensigo ezaakakugulibwa era entuumu gibikkeko endagala ogizizike n'embaawo.
07:1307:16Buli nnaku bbiri, bikkula entuumu era okyuse ensigo.
07:1707:32Oluvannyuma lw'ennaku 6-7, bikkulira ddala entuumu era ozisaasaanye mu kasana ku mmeeza enkalu.
07:3307:43Zikyuse lwakiri emirundi ebiri mu lunaku era oggyemu obukyafu.
07:4407:54Ensigo ziba nkalu bwe zeeyasa nga zinyigiddwako katono.
07:5508:12Ensigo zibikke buli lweggulo oba mu nkuba, ensigo zibikkeko akaveera.
08:1308:16Kakasa nti ensigo za cocoa enkalu teziwumba.
08:1708:44Zitereke mu bukutiya obuyonjo obuteeke waggulu w'embaawo mu kifo ekikalu walako okuva ku bisenge.
08:4510:30Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *