»Ennima n‘endabirira y‘emboga ereeta amagoba – Kifune bulungi, ekitundu ekyokubiri«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=vvGgj9H4Iug

Ebbanga: 

00:12:41

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»www.Farmers.co.ke is the site for authoritative multimedia agricultural and agribusiness content«

Okuzaaza kwe kuzaalwa kw‘ekimera oba ekisolo nga kiyita mu mbeera ez‘obutonde okuva mu kinnaakyo ekikizadde. Okuzaaza ekimera ekipya kisobola okukolebwa mu nsigo nga tonnasimbuliza ndokwa okugisimba mu ttaka.

Ensigo z‘emboga zisooka kusimbwa mu mmerezo nga tezinnaba kusimbibwa ku ffaamu, zibeera mu ttaka mu mmereao okumala wiiki ssatu ku nnya nga kino kisinziira ku kitundu. Mu bitundu eby‘ebbugumu zitwala akaseera katonoko ate mu bitundu eby‘obunnyogovu zitwala akaseera kawanvuko.

Okusimba emboga

Nga osimba, yiwa ensigo nga olaba nti teziriraanaganye nnyo kubanga zijja kweyokya. Oluvannyuma lw‘okukola ennyiriri mw‘osimbye, zibikke era ofukirire. Emmerezo erina okubeera kumpi n‘ennimiro okutangira okukosa oba okumenya endokwa mu kusimbuliza.

w‘ojja amazzi walina kubeera kumpi osobole okufukirira. Emmerezo erina okuba nga etangiddwa omuyaga oguyinza okukunta ate terina kubeera ku kaserengeto okwewala okukulugguka kw‘ettaka ne mukoka. The water source should be near for irrigation.

Endokwa z‘emboga

Laba nga weegendereza ebitonde ebyonoona ebimera era bitangire nga endokwa zijja zikola. Oluvannyuma lwa wiiki nnya, endokwa ebeera etuuse okusimbuliza. Bikka emmerezo omuli ensigo okukendeeza ku bungi bw‘amazzi agava mu ttaka olw‘omusana era okuumire amazzi mu ttaka okumala ebbanga eddeneko.

Leka amabanga wakati w‘ennyiriri mw‘osimbye ensigo okusobola okuyitamu obulungi bw‘oba olwanyisa omuddo, ebitonde ebyonoona ebirime wamu ne mu kufukirira. Mu bika ebirimwa nga bitonotono, kendeeza ku bipimo by‘amabanga, amabanga gapimibwa okusinziira ku kika ky‘emboga era gera obunene bw‘emboga bw‘oyagala.

Ensimba

Mu kusimbuliza, kozesa ebigimusa nga osinziira ku lunnyo oluli mu ttaka okusobozesa ebiriisa ebiri mu bigimusa okubuna mu ttaka. Emboga ensimbulize etwala ennaku kyenda okukula. Fukirira bulungi okukakasa nti amazzi gannyikidde mu ttaka.

Kozesa eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime okugeza ekiwuka ekirya emirandira n‘ensiringanyi. Emboga ziterekwa mu kifo omutatuuka musana ate nga kiweweevu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:40Ensigo z‘emboga ziteekebwa mu mmerezo nga tezinnaba kusimbibwa mu nnimiro.
00:4102:04Mu kusimba, yiwa ensigo mu ngeri nti teziriraanaganye nnyo.
02:0503:11Emmerezo erina okubeera okumpi n‘ennimiro okwewala okukosa n‘okumenya endokwa mu kusimbuliza. Weegendereze ebitonde ebyonoona ebirime.
30:1204:51Nga wiiki ennya ziyiseewo, endokwa ebeera etuuse okusimbuliza. Lekamu amabanga aganaakuyamba mu kusimbuliza.
04:5206:21Amabanga g‘olekamu nga osimba emboga ge gasalawo obunene bw‘emboga bw‘oluubirira.
06:2208:04mu kusimba, kozesa ebigimusa nga osinziira ku lunnyo oluli mu ttaka lyo.
08:0508:40Endokwa esimbuliziddwa etwala ennaku kyenda okukula.
08:4109:42Emboga zirumbibwa nnyo endwadde. Kozesa eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime n‘eritta omuddo okutangira endwadde.
09:4310:47Emboga zirina okuterekebwa awatatuuka musana era awaweweevu.
10:4811:44Abalimi balina okwenyigira mu kulima emboga kubanga akatale keeyongera.
11:4512:41Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *