»Ennima n‘ebikolebwa oluvannyuma lw‘okukungula ebijanjaalo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_3SffA1voKg

Ebbanga: 

00:14:11

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2014

Ensibuko / Omuwandiisi: 

FCI TV
»Akatambi kano wansi wa e- warehouse project eyingizzaamu emitendera egy‘enjawulo emyangu abalimi gye basobola okugoberera okubasobozesa okufuna mu makungula gaabwe. Kino kifunibwa bwetugoberera obulungi amagezi agabaweereddwa.«

Ennima y‘ebijanjaalo tefuna nnyo olw‘endabirira y‘ebirime embi, ettaka obutabeera ggimu, ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde, ensigo ezitali ku mutindo. Okukozesa enkola ennungi kiyamba okwongera ku makungula.

Mu kulima ebijanjaalo kikulu okubitabika n‘ebirime ebirala okwewala ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde era okuule omuddo oguteetaagisa nga bimulisa kuba ebimuli biyinza okugwa.

Okusimba n‘endabirira

Londa ettaka eggimu, eririmu amazzi agamala weewale ebifo eby‘entobazi n‘eby‘olusenyu bisobole okukula obulungi.

Londa ensigo eziri ku mutindo nga za kika kimu ate tosimba nsigo y‘emu mu sizoni ssatu okukuuma omutindo.

Kabala ettaka wiiki bbiri ku nnya mu biseera by‘enkuba era osimbe mu biseera by‘enkuba kubanga ettaka liba lirina amazzi ag‘okukuza ebijanjaalo.

Ziwe amabanga ga 45cm wakati w‘ennyiriri ne 20cm wakati w‘ebirime ne 60cm wakati w‘ennyiriri ne 15cm wakati w‘ebirime ng‘okozesa ente ezikabala ensigo bbiri buli kinnya.

Teekamu ebigimusa era obitabule bulungi n‘ettaka okufuna amakungula amangi.

Ggyamu omuddo oguteetaagisa wiiki emu ku bbiri oluvannyuma lw‘okumeruka n‘oluvannyuma lwa wiiki ssatu okukendeeza ku kuvuganya olw‘ebirungo.

Kungula ng‘eminyololo teginnawotoka era oyawule ebikalu n‘ebyakiragala okwewala okufiirizibwa.

Ebikolebwa oluvannyuma lw‘okukungula

Bikube mpolampola ku nntundubaali era oggyemu ebisaaniiko okufuna ebijanjaalo eby‘omutindo.

Wewa okuggyamu ebikyafu.

Sunsula okuggyamu ebifufunyadde, ebirwadde era okakase nti eby‘enjawulo biri ku mutindo.

Sunsula okusinziira ku langi, obukosefu, ebiteetaagisa, ebiwuka n‘ebitonde ebyonoona ebirime, ekisu.

Ensigo ziteekeko eddagala erikkirizibwa ku doozi entuufu, biteeke mu kaveera era obikuumire mu kifo ekikalu ate nga kiyonjo okubyewaza ebitonde ebyonoona ebirime.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:58Ebijanjaalo byetaagibwa nnyo okusinga ku bungi bwabyo.
00:5901:25Endabirira y‘ebirime embi, ettaka obutabeera ggimu, ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde bikendeeza ku makungula.
01:2602:12Ensimba n‘endabirira y‘ebijanjaalo.
02:1302:53Londa ettaka eggimu, eririmu amazzi agamala era otabike ebirime.
02:5403:34Londa ensigo eziri ku mutindo nga za kika kimu ate tosimba nsigo y‘emu mu sizoni ssatu.
03:3504:29Kabala ettaka wiiki bbiri ku nnya mu biseera by‘enkuba era osimbe mu biseera by‘enkuba.
04:3005:13Ziwe amabanga ga 45cm wakati w‘ennyiriri ne 20cm wakati w‘ebirime era ensigo bbiri buli kinnya.
05:1406:27Tabikamu ebirime ebirala era oteekemu ebijimusa obitabule n‘ettaka.
06:2807:05Ggyamu omuddo oguteetaagisa wiiki emu ku bbiri oluvannyuma lw‘okumeruka n‘oluvannyuma lwa wiiki ssatu.
07:0607:43Kungula ng‘eminyololo teginnawotoka era oyawule ebikalu n‘ebyakiragala.
07:4407:49Ebikolebwa oluvannyuma lw‘okukungula.
07:5008:30Bikube mpolampola ku nntundubaali era oggyemu ebisaaniiko.
08:3110:53Wewa era sunsula ebijanjaalo
10:5413:01Ensigo ziteekeko eddagala erikkirizibwa ku doozi entuufu, biteeke mu kaveera era obikuumire mu kifo ekikalu ate nga kiyonjo.
13:0214:11Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *