Okusinzira nti abantu beyongodde mu nsi, ennima ez’enjawulo zigunjuddwawo okusobola okwongera ku makungula n’okukasa nti abantu bonna bafuna eky’okulya.
Ebigimusa n’eddagala erifuuyira ebitonde ebyonoona ebirime bikozesebwa ku bimera n’ebisolo biyinza okukuumibwa mu bifo munda mu kifo ekirimu ebisolo ebingi okusobola okwongeza ku bungi bwa mata, amagi, oba okwongera ku kiseera ekyetaagisa ente z’ennyama okuteekebwa ku katale. Engeri endala nga oggyeko ey’okukozesa ebigimusa n’eddagala yeeyo ey’okukozesa obutonde era nga esaliddwawo nga ennima endala ezinga kweyo ey’okweyambisa ebigimusa kuba eyambako okutangira ku kizibu ky’enkyukakyuka y’embeera y’obudde ekiriiwo ensangi zino.
Ennima y’obutonde
Ennima y’obutonde ensangi zino eweza ekitundu kimu ku buli kikumi eky’ettaka eririmwako mu nsi yonna. Esinga nnyo kufa ku busoboozi n’okulowoozebwako nga ennima etalina nnyo bulabe eri obutonde.
Mu bigambo, ennima y’obutonde tekozesa bigimusa bya ddagala, eddagala erifuuyira omuddo n’ebiwuka ebyonoona ebirime oba ebyongerezebwa ku mmere y’ebisolo. Kyetaagisa omulimi okukozesa ebintu ebyonna ebiva mu butonde. Kino kiviraako okufuna amagoba amatono naye omulimi asobola okutunda ebimera bye ku bbeeyi eyawaggulu kubanga biba ku mutindo ogwa waggulu.
Ebikozesebwa
Mu kifo ky’okukozesa ebigimusa, obusa bwebukozesebwa. Kino kireetera omulimi okuddamu okukozesa ekintu n’okwongera ku kikula ky’ettaka. Wabula, buba buwunya nnyo ateera buzibu bwakukozesa okusinga ekigimusa ekikoleddwa okuva mu ddagala.
Okukyusa ebirime ebisimbibwa mu sizooni z’enjawulo kukolebwa okusobola okukendeeza ku ndwadde ezeesomba mu ttaka n’okuggumya ettaka. Ebimera ebimu nga ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka okuva mu mpewo n’okwongera ebiriisa mu ttaka. Mu kifo ky’okukozesa eddagala erifuuyira omuddo, okukuula omuddo ogwonoona ebirime y’enkola esinga okukozesebwa mu nnima ey’obutonde