Okusalira ebinazi mubamu okugyako ebisansa okusobozesa omuti okufuna omusana. Era omuti gw’ebinazi okusalidwa obulungi gulina okuba nebikoola 30 ku 60.
Okwongerako okusalira ebinazi kisobozesa ekitangaala okuyitamu nekifuula, amanyi, amazzi okufuuka emere ya carbohydrates. Okwongerako, okusalira ekinazi kyamugaso kuba kiyamba okugyamu enfuufu, ebyononese wamu n’ebisansa ebikadiye , kyanguyiza mu kunoga era nokwongera ku makungula. Buli lwoba onoga kakasa nti wesabika mu bintu nga magetisi, giravu ne galubindi.
Engeri z’okusalira
Okusalira ebinazi ebito nga tonakungula, muno mulimu okugyako ebisansa ebya wansi okwanguya okunoga.
Enkola eyokuza obujja, wano ekinazi kiba tekisalirwangako okuyita mu mwaka, wabula enkola eno ekooya. Okugattako, kino kirina okukolebwa nga sizoni ey’amakungula amangi tenatuuka okusobola okufunako ennyo.
Enkola eyokulabirira, kino kikolebwa buli myezi mukaaga era ebiseera ebisinga emirundi ebbiri mu mwaka.
Ebintu ebikolebwa
Wewalenga okugyako ebisansa ebyakiragala ebiramu ku kinazi eky’emyaka 3 -8 okuva lwekyasimbibwa. Era ku myaka 5-7 sigazako ebisansa 40 -48 ate waggulu w’emyaka 15 sigazako ebisansa 40 nga buli wansi wa kirimba waliyo ekisansa kimu ekiramu.
Ekisembayo bwoba onoga ebinazi kakasa nti okozesa ebikola ebituufu okugeza akayuya akasala, omuti omuwanvu, ebisala era bwomala okunoga, tema ebisansa era obileke bivunde, kino kyongera ku biriisa mu ttaka nekyongera ku makungula.