Ngomazze okungula kasooli, olina omukongola, okumulonda n‘okumukazza obulungi.
Kas00li bwaba taterekedwa mungeri esanidde, ayononeka mangu. Kasooli aterekeddwa waba mubisi amela era akukula mangu kino kiretera amakungula okulumbwa amangu obuwuka.
Okongola, okulonda no‘kukazza
Bwomala okujako ebikuta, yalirira kasooli ku tundubaali oba longoosa ekifo wasobola okalira akabanga. Tomulakawo kumala kiseera kiwanvu kubanga yandimenyeka ku mitendera mu maaso.
Weyongere okukongola empeke okuva kubikongoliro, bwoba okozesa mikono kyanditwala akaseera kumutendera guno naye empeke ntono ezijja okumenyeka. Osobola okwalirira kasooli kutundubaali okumulongoosa nga ojjamu obukyafu ne‘mpeke ezimenyese. Buli kiseera kakasa nti etundubaali liyonjo. Muleke mukasana era gobawo ebisolo.
Omutendera gw‘okukazza gutwala essawa nnya era kirina kolebwa nga akasana kaaka bulungi wakati wa ssawa 5 ez‘okumakya ne 9 ez‘akawungezi.
Kyamugaso okukyusa kyusa kasooli okusobola okukala kyenkanyi. Okukebera watuuse funa yo empeke era ozinyenye. Kasooli bwaba akazze muleke agwemu ekibugumu era oluvannyuma tandika okumutereka.