Enkozesa y’eddagala eritta omuddo ogw’onoona ebirime
Mukusookera ddala ,yambala eby’okwekumisa eby’obwanannyini okuli ovulo,akabika ku nnyindo,magetisi,ne gilavuzi era ennimiro gifuuyire mu kiseera ng’embuyaga si yamannyi era nga teri nkuba egenda kuttonnya mangu.Kakkasa nti akafuuyira n’awayita eddagala wafiiriddwako bulungi era abantu abatalina byakwekuumisa balina kubeera wala ng’okufuuyira kutandise.
Mungeri yemu, omuntu omutendeke yalina okufuuyira eddagala linno mu nnimiro era abaana tebalina kuzza na ddagala linno.Omuntu talina kulya,kunnywa obba kufuuweta sigala waba afuuyira oba nga ateekateeka eddagala era alina okuteeka obuccupa obuwedde mu eddagala mu kiffo awakunganyizibwa kasasiro owobulabe.Wewaba tewaliiwo kiffo ekyo,akaccuppa kayumunguzemuu emirundi essattu,okafumite mu akatuli mu ntobo ng’okozesa omusumaali era okaziike mu ttaka wansi.Tokozesa obuccupa obuwedde mu eddagala okunnywa amazzi.Akafuuyira tokoleza mu kagga ak’okumpi ng’omazze okufuuyira,yozza era okyuse engoyezo ng’omazze okufuuyira nga tonalya wadde okunnywa ekintu kyonna.
Mukwongerako,eddagala werikugenda mu maaso,ganaabe mu n’amazzi okumala edakiika 10 wabula wofuna kamunguluze ng’omazze okufuuyira,tonnywa amatta oba butto w’ekinnazi.
Mukusembyayo,genda mu ddwaaliro osobole okufuna obujjanjabi obutuufu.