Enkola y’okusaanyawo emiti n’ebisaka nungi nnyo okugyawo emiddo egiteetagisa mu kibirakyo, oba emido egyo gimeruka mangu ate nga gy’abulabe oba nga ginnansangwa.
Nkola yakuteeka ddagala ku bimera ebit’etagisa awatali kutaataganya ebyo eby’etagibwa. Kyonna kyewetaaga nga ekikozesebwa kwekuteeka omuwaatwa mu muti era nga kino kisobola okukolebwa nga weyambisa ejambiya wamu necupa efuuyira ebisobola okugulibwa kudduuka lyona ely’ebyoobulimi.
Enkozesa yeddagala
Ebikozesebwa ebirara eby’etagibwa byeby’okwekumisa era nga bino mulimu ebibika amaaso, engalo, esaati nga yamikono miwanvu n’empale wamu n’engato ezibika ebigere byonna.
Mukukozesa enkola eno, ky’amugaso okumanya obunene by’omuti gw’okolako. Enambika etuufu yandibade nti otema omusale gumu kubuli yinci y’obunene bw’omuti.
Ekintu ekirara eky’okuteeka munkola kyeky’okubanga omusale ogukoledwa tegusuka yiinci 1 mu dayameta kwekugamba omuti ogutatemedwaako guyina okubeera nga gukka mu yiinci 1 mu dayameta.
Omuti bwegubanga guli wakati wa yiinci 2-3 mu dayameta awo guba gwetaaga okutemwaako obunnya 3 okukakasa nti tewaliiwo yadde ebanga lya yiinci 1 wakati w’ebunnya obutemeddwaako.
Mukuteekako obunnya, tema kumuti nga owunzise diguliizi 45 okukakasa otema okusuka mukikuta nga wakatuuka kumuti. W’etolooze ejambiya ekimala okusobola okubikula ekiwundu era ofuuyire nga weyambisa ecupa efuuyira.