Okulukuta kw‘ettaka kutera kuba mu biffo eby‘akaserengetto ,kino kiviirako ebimera okufiirwa ebiriisa.Osobola okozesa amabanda okukyewala.
Mu ntekateeka y‘ettaka esoboka ,okwewala kw‘ettaka okulukuta kwamugaso nnyo nadala mu biffo ebirina ensengeka y‘ettaka embbi.Amabanda gasobola okozesebwa okwewala okulukuta kw‘ettaka. Mu kwaza amabanda,sima amabanda agafunnye emerusizo paka ku ntobo awo olyoke ogasimbuliza ogateeke mu nnimiro endala oba mu bisawo ebisimbibwamu.
Engeri endala y‘okusimba mu
Amabanda gasobola okusimbibwa nga ottema enduli ,wabula olina okuzifuna okuva ku mitti egiwezeza emyaka essattu. Ttema enduli ezirina amaaso abiri ekitono ennyo nga byewunzikidde mu ango ya diguli 45, jjako ebitundu ebibadde bikula osimbe. Oluvannyuma lwa wiiki munnaana ku kummi,ekimmera kiba kitandise okukula, ekyo wekibaawo osobola okukisimbuliza.
Era osobola okusimba ekikolo .
Emigaso gy‘amabanda
Simba emitti gy‘amabanda ku ttaka ery‘akaserengetto okusobola okwewala ettaka okuluukuta.Eno y‘enkola esinga okuba ennyangu mu kwewala enkulukuta y‘ettaka. Amabanda tegeetaaga ndabirira y‘amannyi n‘olwekyo wegasimbibwa gasobola okwekuza gokka.
Amabanda era gasobola okozesebwa mu kola ebintu ebiva mu mitti,mu kukola empapula,era gasobola okozesebwa mu kuzimba ne mu kukola emmerusizo.Wabula amabanda ogakola mu ekintu ekirala galina okuba nga gamaze emyaka ettaano ekitono ennyo.