Enkwa ze zimu ku bintu ebisomooza mu by‘obulimi n‘obulunzi. Okuzinyika, okuzifuyira n‘okuziyira ze zimu ku ngeri ez‘enjawulo ezeyambisibwa mu kuziyiza enkwa n‘endwadde eziva ku nkwa.
Bwoba oteekakateeka ekiddiba omw‘okunyika faayo nnyo ku kifo. Eifo kirina okuba nga kiseetevu ngate kirinaanye ewava amazzi nga kiteekeddwako omuwaatwa okulinana ekiddiba n‘okwetoloola olukomera. Obunene bw‘ekiddiba kirina okuba nga bumanyikiddwa atera walina okubawo ekifo ensolo w‘ezinabira ebigere nga ziyingira mu kiddiba, nga kisereke n‘ebisenge ebirungi okusobola okukendeeza ku kwonoona eddagala erifuyira. Ekifo awafulumirwa kirina okuba nga kiseetevu eddagala okubanga nga linda mu kiddiba.(dip tank)
Engeri endala ez‘okuziyizamu enkwa.
Nga oggyeko okunyika mu kiddiba, engeri endala ez‘okuziyizamu enkwa omuli; okufuyira n‘engalo,n‘okuziyira eddagala.
Fuyira ng‘okozesa engalo ngokozesa ebbomba singa olina ensolo ntono naye faayo nnyo ku bifo enkwa weziri ennyo.
Obuka bw‘eddagala buyinza okuyamba singa buba buteekeddwa mu bifo awali enkwa naye nga kino tekikola nnyo.
Eddagala lino eriteekebwako nga bayiwako liyiwe eriyitibwa pyrethroids lisobola okukozesebwanga liyibwa mu lukuubo ku mugongo okuva ku bibegabega okutuuka ku mukira, ne ku mutwe mpozzi ne mu matu n‘okuyisa ebbali w‘omukira. Olw‘okuserera kw‘eddagala lino kiriyamba okukulukuta ne libuna ensolo yonna naye ensolo erina okuba nga nkalu okusobola okugiwako eddagala lino.
Endabirira y‘ekiddiba ekiteekebwamu eddagala erifuyira
Mu nkola y‘okunyika n‘okufuyira, eddagala lino lirina okupimwa obulungi okusobola okukuuma obuka bw‘ekirungo. Kyusa oba jjulirizaawo eddagala eddala oluvanyuma lw‘okunyikamu ensolo 500 . Okukyusa kuyinza okukolebwa kuyinza okusinzira ku buwanvu agaba gavudde mu kiddiba n‘oyongeramu amazzi agabagavudde mu kiddiba oba osobola okubala ente nomanya mekka ezakanyikibwa n‘ezibulayo ng‘osinzira ku biragiro by‘omukozi w‘eddagala. Abantu abamu beeyambisa enkola ey‘okutabula eddagala eppya buli lunyika.Mu nkola ey‘okufuyira eyitibwa spray race kakasa nti omutwe gw‘ebbomba (nozzle) gukola bulungi nny, amaanyi eddagala kw‘erifulumira ntuufu .Omuwendo gw‘eddagala erifuyira gulina okugattibwamu oluvanyuma lw‘okunyika ete kikumi ng‘ogoberera ebiragiro by‘omukozi w‘eddagala.
In the spray race, ensure that the nozzles are working properly, pressure is correct and there should be a footh at the entrance of the spray race. A given amount of acaricide must be added after every 100 cows sprayed according to manufacturers‘ prescription.