»Enkola y‘okulimira mu mazzi mu Kenya – ekitundu 1«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=HWiLqbPRLDU&list=PUZfzFgmReSD09S2L-cvg8uA&index=17

Ebbanga: 

00:11:51

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

»Okulimira mu mazzi y‘entandikwa y‘enkola z‘okulimira mu mazzi mu East Africa. Kisobozesa abalimi okufuna amakungula g‘enva endiirwa agateeberezeddwa era nga mulimu ebiriisa era n‘okwekolera emmere y‘ebisolo ku ssente ntono. Mu kulimira mu mazzi omulimi takosebwa kiseera kya kulimiramu n‘embeera y‘obudde embi«

Enkola y‘okulima awatali ttaka etwalibwa ng‘engeri empya ey‘okulima okwetooloola ensi era engeri eno ey‘okulima emanyiddwa nga okulimira mu mazzi. Wabula enkola eno ebaddewo okumala emyaka nkumi n‘enkumi okuviira ddala mu 1600BC.

Mu kyasa ekya 21, okulimira mu mazzi etandise okufuuka enkola ya bannakibuga okwetooloola ensi era ne mu Kenya.

Emigaso gy‘okulimira mu mazzi

Emigaso giri, okukozesa ekifo ekitono, ennima erabika bulungi ate nnyonjo kubanga tokozesa ttaka. Noolwekyo, teweetaaga kuddugala ng‘olima, okulimira mu mazzi kukekkereza ebitundu 80% eby‘amazzi, ebirime bikula mangu olw‘ebirungo ebibiweebwa n‘ennima etatwala bbanga ddene.

Era kikendeeza ku kulumbibwa ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde olw‘okukendeeza ku kukozesa ettaka naye bwe wabaawo obulwadde okubirizibwa okukozesa eddagala erifuuyira ebirime ery‘obutonde eritarina nnyo bulabe.

Ebika by‘ennima y‘omu mazzi

Waliwo ebika bibiri, ebifo awali ebirime n‘ebifo awalundirwa. Waliwo enkola ez‘enjawulo omulimi z‘asobola okukozesa. Enkola esooka yeeya nutrient film technique (NFT) era eno ekozesa byuma ate yeetaaga akuuma akapika amazzi okusobola okupika amazzi okuva mu tanka etereka amazzi okuteeka mu birime era esobola okuwanirira ebirime 450.

Enkola eyookubiri mu birime ye y‘ennimiro eri okumpi n‘effumbiro era ekolera nnyo omuntu yenna ayagala okugala okugaziya ekifo ku kabalaza ke. Enkola eno efukirirwa na ngalo era esobola okuwanirira ebirime 300.

Endabirira y‘ebifo

Enkola ya NFT ekozesa empiira enzirugavu entono okuwa amazzi okuyita mu mikebe okutuuka mu birime. Mu kufukirira, ebirungo biteekebwa mu mazzi era bikulukuta nga nga bipikiddwa ku kirime ekisembayo era amazzi ne gaddamu okukozesebwa. Enkola eno nnungi ku birime bya lettuce, broccoli, cauliflower, spinach ne kales.

Mu nnimiro eri okumpi n‘effumbiro, enkola ekolebwa na ngalo mu ngeri y‘okufukirira ebirime bulu lunaku n‘ekidomola. Ennimiro nnungi ku bibala bya strawberries, spinach and kales era ewanirira ebirime 300.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Enkola y‘okulima awatali ttaka etwalibwa ng‘engeri empya ey‘okulima okwetooloola.
01:3102:14Okulimira mu mazzi kitegeeza okulima awatali ttaka.
02:1503:18Emigaso gy‘okulimira mu mazzi.
03:1904:09Ebika by‘ennima y‘omu mazzi.
04:1004:59Enkola ya nutrient film technique (NFT).
05:0005:40Emigaso gy‘okupika amazzi agalimu ebirungo mu kufukirira ebirime.
05:4106:15Okukozesa emikebe mu kusimba ebirime.
06:1606:49Obusobozi bw‘enkola ya nutrient film mu kiseera ky‘okusimba.
06:5007:21Ebirime ebigya mu nkola ya NFT.
07:2208:11Okulimira mu mazzi kukendeeza ku bitonde ebyonoona ebirime n‘obulwadde kubanga tekozesa ttaka.
08:1208:42Ebifo eby‘enjawulo ewasobola okulimirwa mu mazzi.
08:4309:27Okukozesa tanka etereka amazzi okuddamu okukozesa amazzi n‘ebirungo.
09:2810:02Ennimiro eri okumpi n‘effumbiro n‘obulungi bwayo.
10:0310:38Emigaso gy‘enkola y‘ennimiro eri okumpi n‘effumbiro.
10:3911:51Ebirime ebisimbiddwa mu nnimiro eri okumpi n‘effumbiro wamu n‘obusobozi bwayo okukuza ebirime.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *