»Enkola y‘okulimira mu mazzi| Ennima entobeke ey‘enva endirwa n‘okulunda eby‘ennyanja | Enkola y‘okulimira mu mazzi eri abo abatandika«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=hvhcRZmYQZ0

Ebbanga: 

00:10:55

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
» Ebinyonnyolwa bingi ku nkola y‘okulimira ku mazzi biraga nti ebifo ebizimbiddwa okulimibwako kiyite ‘ponics’ kimu ku kigambo ekitegeeza okulimira ebirime mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa nga mulimu ettaka ttono. Okulimira ebirime mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa nkola ngayo ekula erina ebizibu n‘obulabe(enyonnyoddwa oluvanyuma)«

Enkola y‘okulimira mu mazzi yeeyo ey‘okusimba ebimera awatali ttaka awo eky‘ennyanja wekirira n‘okuwa ebisigalira n‘osobola okufuna ekigimusa ekyakabi ekiyamba mu nkula y‘ebimera. Era kisobozesa omuntu okukungula obulungi eby‘ennyanja n‘enva endirwa.

Okulimira ku mazzi nkola eyesigamiziddwa ku butonde nga eyita mu kukozesa ebisigalira okuva mu by‘ennyanja n‘ebifulibwa ekigimusa eky‘ekimera n‘okulongoosa amazzi nga mayonjo ag‘eby‘ennyanja. Mu kulima ebimera mu ttaka kyetaagisa okuddamu okukozesa ekigimusa oba nakavundira. Okukozesa ennyo ebigimusa ebikolerere oba nakavundira akoleddwa okuva mu butonde okwongera ku lunnyo mu mazzi ettaka libeere n‘ebbugumu lingi ebimera bikule ekivirako okutta obuwuka obusirikitu obubeera mu ttaka. Okufukirira ennyo ettaka kiyinza okuvirako okwanjala kwa mazzi , mukooka okukuluguka, n‘ettaka okukatira.Amazzi amatono ennyo, ekyeya n‘ebbula lya mazzi bivirako ekimera obutakula era kivirako ekimera okubikibwa ettaka.

Enkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa n‘okulima ngokozesa amazzi gokka.

Ebisomooza ebisangibwa mu nkola ey‘okulimira mu mazzi agata buddwa ebiriisa bwe buno; kyetaagisa okulondoola ennyo naddala mu mwezi ogusooka era singa omanya ekipimo ky‘olunnyo n‘okukebera obungi bw‘ekirungo kya ammonium. Amazzi getaaga okukyusibwa oluusi kuba omunnyo n‘eddagala bitera okwetuuma mu mazzi ne gafuuka ag‘obutwa eri ebirime. Era birumbibwa mangu endwadde nga pythium mpozzi n‘emirandira okuvunda.

Mu kulima ngokozesa amazzi gokka, tekyetaagisa kukyusa mazzi, okuleka singa amazzi gaba gaweddemu. Kigobera ddala omuddo ogutawanya ebirime n‘obusolo obutono okugenda mu nnimiro, kyetaagisa amazzi matono ekitali mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddamu ebiriisa ate era tekyetaagisa kukozesa ddagala lifuyira n‘okutta ebiwuka ebyonoona ebirime

Obukodyo obugobererwa mu nkola y‘okulimira mu mazzi gokka

Mu kulimira mu mazzi nga bakozesa enkola eyitibwa Deep culture bakozesa akantu akatengejjeza ku ngulu okujjudde amazzi g‘eby‘ennyanja, akasengejjebwa okuggyamu ebisigalira ebiba byekute era ebimera n‘ebitayalira mu mazzi. Mu nkola y‘okulimira mu mazzi eyitibwa Media based eno y‘engeri y‘okusimbamu ebimera mu mazzi omutali kirungo kyonna nga bakyusiza ekirungo kya ammonia nekifuuka ekirungo kya nitrate n‘okuggyamu ebisigalira ebiba byekute munda omwo.

Enkola eyitibwa Nutrient Film Technique ekozesebwa nga bateeka amazzi mu muwatwa omufunda olwo ebimera n‘ebiteekebwa mu butuli obuteekeddwako olwo emirandira negitayalira okwo bulungi. Ebimera ebisimbiddwa obuwanvu bisigala ku ngulu ku binaabyo naddala mu nkola eyitibwa tower. Amazzi gakulukutira kungulu nga gayita mu mikutu ebimera n‘emirandira n‘ebisobola okufuna amazzi n‘ebirungo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:00Okulimira mu mazzi
01:0101:44Engeri enkola y‘okulimira mu mazzi gyekozesebwamu
01:4503:15Ennima ennansi
03:1604:15Okusomooza okuli mu kufukirira ettaka
04:1505:36Ennima ennansi ey‘okutabula ebiriisa mu mazzi
05:3607:06Ebizibu ebiri mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa
07:0708:30Emiganyulo egiri mu kulimira mu mazzi
08:3109:29Okulimira mu mazzi nga okozesa enkola eyitibwa deep water culture ne Media-based
09:3010:38Enkola y‘okulimira mu mazzi eyitibwa Nutrient Film Technique ne y‘okulima obusimba

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *