Enkola ezisinga obulungi ez’okusunsula omuzigo mu ngeri ennansi mu Lungereza (USA)

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=uqiIjeLJIOA

Ebbanga: 

05:15:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO™ Scientific Animations W
Olw'okuba emmere erimu ebiriisa era nga yettanirwa abantu bangi mu nsi, amata gasunsulibwa ne gongerwako omutindo n'omuwendo okukola omuzigo, bbongo (yoghurt) n'amata g'obuwunga. Okusunsula omuzigo kwetaaga ekifo ekiyonjo nga kiyisa bulungi empewo era ekifo ekisunsulibwamu tokiteekamu binyonyi, nsolo n'okukoleramu ebintu ebirala era toleka baana bato oba ebisolo ebirundibwa okuzannyira okumpi n'ekifo ekisunsulibwamu. Ekifo ekisunsulibwamu tekirina kuliraana wasuulibwa kasasiro, ennimiro etalina kikomera, ensiko oba amazzi agalegamye.

Okukusunsula omuzigo 

Ekisooka, kakasa nti oteeka akatimba mu kifo ekisunsulibwamu singa kiba kiriraanye ekiraalo okwewala enswera era longoosanga ekifo ky’okoleramu nga tonnatandika kukola. Mansira amazzi ku ttaka okwewala enfuufu era kakasa nti ogoberera emitendera nga okola okwewala obukyafu era ebikozesebwa oba ebikoleddwa tobiteeka butereevu ku ttaka wabula biteeke ku bintu ebigulumivu.
Okufaananako, yambala engoye ennyonjo era onaabe engalo ne ssabbuuni n’amazzi nga tonnatandika kusunsula era weekenneenye amata agakuweereddwa okebere olunnyo n’ebbugumu okukakasa nti malungi okusunsulibwa. Nga tonnasunsula, longoosa bulungi ekikozesebwa okuleetera amata okukwata (coagulant) era okozese amazzi amayonjo okukenenula wabula toteeka ngalo mu mukebe okukebera amata nga tozinaabye na ssabbuuni. 
Yoza ebintu byonna oluvannyuma lw’okusunsula mu mitendera esatu ng’oddamu n’onyumunguza, ng’oyoza n’amazzi agalimu ssabbuuni n’onyumunguza n’amayonjo. Kozesa bbulaasi okukuuta ebisero by’embaawo era ekisembayo yanika ebintu byonna nga tonnabitereka.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:47Omuzigo gusunsulire mu kifo ekiyonjo nga kiyisa bulungi empewo
00:4800:58ekifo ekisunsulibwamu tokiteekamu binyonyi, nsolo n'okukoleramu ebintu ebirala
00:5901:05 toleka baana bato oba ebisolo ebirundibwa okuzannyira okumpi n'ekifo ekisunsulibwamu
01:0601:16Ekifo ekisunsulibwamu tekirina kuliraana wasuulibwa kasasiro, ennimiro etalina kikomera, ensiko.
01:1701:29 kakasa nti oteeka akatimba mu kifo ekisunsulibwamu singa kiba kiriraanye ekiraalo
01:3001:39longoosanga ekifo ky'okoleramu nga tonnatandika kukola
01:4001:52Mansira amazzi ku ttaka okwewala enfuufu
01:5301:59kakasa nti ogoberera emitendera nga okola
02:0002:11Ebigenda okukozesebwa oba ebikoleddwa tobiteeka butereevu ku ttaka
02:1202:25yambala engoye ennyonjo era onaabe engalo
02:2602:53weekenneenye amata agakuweereddwa okebere olunnyo n'ebbugumu
02:5403:08Nga tonnasunsula, longoosa bulungi ekikozesebwa okuleetera amata okukwata (coagulant)
03:0903:50toteeka ngalo mu mukebe okukebera amata nga tozinaabye na ssabbuuni.
03:5104:14Yoza ebintu byonna oluvannyuma lw'okusunsula
04:1504:14yanika ebintu byonna nga tonnabitereka
04:1505:15ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *