Enkoko ennansi n‘ezo ezirongoseddwa mu zisobola okulundibwa buli wamu mu Kenya.Omuntu kyeyetaaga bwebwagazi bw‘okulunga,endowooza ya bizinensi,okwewaayo,n‘ensimbi eziteekebwa mu.
Okulunda enkoko za kuloyira
Abalunzi b‘enkoko za kuloyira bettanira nnyo enkola y‘okulunda enzoko nga zenonyeza emmere,wanno abalunzi tebatawannyizibwa na kuzimba biyumba,kufuna bakozi,kugula bikozesebwa mu kulunda,okugema n‘okujjanjaba.
Woba olunda enkoko za kuloyira wekkannye ekiyumba,wonafuna amazzi n‘emmere,omusawo w‘ebinnyonyi newonatuunda enkoko zo.
Enkoko za kuloyira tezimala galwala ate zisobola okwenonyeza eky‘okulya.
Ebika by‘enkoko za kuloyira
Ekikka ekiyitibwa Kari zino ziba zi longoseddwa mu era zinno zivaamu ennyama n‘amaggi mu bungi era nga zisobola okugumira embeera y‘obudde eyenjawulo.
Enkoko za kuloyila zenonyeza bulungi emmere era tezeetaaga nnyo ndabirira.
Ekikka ekiyitibwa Rainbow rooster zirundibwa lwa maggi na nnyama,kino kiba ne langi enkyamufu wabula obwagazi bwakyo butono ate zirya nnyo.
Ekikka ekiyitibwa Kenbro kinno era kirundwa lwa maggi na nnyama era enkoko zigejja mangu.
Okusoomozebwa.
Obukoko bufuna mangu obulwadde n‘olwekyo kubuliisa emmere embi ku mutendera gw‘okwaluza kiyinza okukosa enkula yabwo.
Obutaba nabubaka butuufu kikuletera okumannya amagoba n‘okufiirizibwa kw‘ofuna mu bulunzi bwo.Wobeera ozimba ekiyumba olina okwekkannya ennyo enfulumya n‘ennyingiza y‘empewo,ekitangaala ekiva ku musana n‘akabanga
Emmere y‘enkoko
Mu mwezi ogw‘okusattu obukoko buwe emmere eyakiragala okusobola okutumbula omutindo gw‘ennyama yaazo n‘amaggi.
Emmere esokerwako okuwebwa enkoko ekubirizibwa okuwebwa obukoko mu wiiki munaana ezisooka ,ate ezikuza eziwebwa mu wiiki 9 ku wiiki 16.
Emmere ewebwa enkoko mu kubiika ,eno ekubirizibwa okuwebwa enkoko ezibiika zoka