Nga engeri yokuwangaaza embeera etwetolode, enima yekintabuli ekolebwa kulwebirungi byerina.
Mu nsi yona, ebintu 16% eby’enimiro n’omuddo biri ku nkola y’akintabuli nga 1/3 ku miti giri ku faamu. Enima y’ekintabuli eyamba mu kukendeeza enkyukakyuka mu mbeera y’obudde wamu nokuza obutonde mu bitundu.
Okutandika okulima kw’ekintabuli
Nga enduli y’omuti gyekoma okugejja, bwebungi bwa Carbon aterekwa, ebimera byona ebibeera mu nima yekintabuli bigya omukka omubi ogwa Carbondioxide mu banga era Carbon asigala mu mbawo ezizimba oba nga ekigimusa mu ttaka.
Mu ngeri yemu, enima enungi nga okusimba emiti egigata Nitrogen mu ttaka, okukozesa ekigimusa ekiva mu bimera, okubika ettaka wamu nokugimusa birina okuyambako okusobola okukwasanga enkyukakyuka mu mbeera y’obudde era emiti wamu n’obusaka mu layini ku buserengeto wamu nokusimba emiti gyebisikirize.
Ekisembayo, tabika ebika byebirime ebitafanaganya ndwadde n’abiwuka okukendeeza ku kukozesa eddagala erifuyira. Enima y’ekintabuli eyamba abalimi okuyita mu mbeera enszibu.