Obutungulu bye bimu ku birime eby‘ettunzi, ekika ekisinga okulimibwa mu Kenya bwe butungulu obunene. Nga kitwala wakati w‘emyezi 3 ku 4 okukula.
Kikubirizibwa okufuna ensigo ey‘okulima okuva mu dduuka eritunda eddagala ly‘ebirime. Omulimi alina okufaayo ku kika ky‘ensigo kyagenda okusimba , ekifo mwagenda okusimba, n‘ekika ky‘ettaka. Waliwo ebika by‘ensigo bibiri okugeza ebirongoseddwamu n‘ebitali . Ku kika ekirongooseddwamu, kilo emu ey‘ensigo esimbibwa ku yiika emu ate ensigo ezitalongooseddwamu simba kilo 1.25 ku yiika emu ey‘ettaka.
Emmerusizo y‘obutungulu.
Obutungulu bukulira nnyo mu bifo eby‘ebbugumu nolw‘ensonga eyo bwetaagisa amazzi matonotono. Bwe buba bukula buvaayo mu ttaka ne bsweyoleka akasana okusobola okukyusa langi yaabwo.
Ensigo z‘obutungulu ziwangaala okusukka omwaka era zizaala ensigo mu mwaka ogw‘okubiri. Okuteekateeka ettaka kulina okukolebwa mu bwangu okukakasa nti ettaka lisetedde bulungi. Nga otegeka emmerusizo, kola elina mita 3 kikusoboozese okutambula n‘okukoolamu obulungi.
Okuteekateeka ettaka
Ettaka lirina okuba nga lirina obusoobozi obukuuma amazzi n‘ekirungo kya nitrogen. Nakavundira asobola okugattibwa mu ttaka nga tonaba kusimbuliza ndokwa.
Ekirime ky‘obutungulu kyetaaga ekiriisa kingi okusobola okumera agatungulu aganene. Obutungulu bwetaaga ekigimusa kingi kuba kibuziyiza okuvunda.
Kiba kisaana okuteekateeka ettaka lyo wakati wa wiiki 3-4 nga tonaba kutuusa lunaku lwa kusimbirako nsigo.
Okulikiriza ensigo
Kulwa makungula amalungi, siga ensigo mu mmerusizo era ozibikke . Kino kiziyamba okwekuza zokka.
Kakasa nti emmerusizo efukiriddwa bulungi, nga okozesa enkola ey‘okumansira. Fukirira nga waliyo ebbugumu ttono naddala mu budde obw‘emisana okuwala okufirwa amazzi.
Simba ensigo wakati wa kilo 2-3 ku buli yiika. Fukirira obutungulu okumala wiiki wakati wa 5-6