Mu bulunzi bw‘embuzi olina kufaayo nnyo ku kulunda n‘okwala kwazo noolwekyo kya makulu nnyo okukendeeza ku kufa kwazo.
Okufirwako emu oba ebbiri oba essatu mu ggana ly‘embuzi 1000 tekiba kibi naye kiba kiraga nti waliwo ekikyamu ku ddundiro nolw‘ensonga eyo, bwofirwa embuzi emu, fuba nnyo okunoonyereza ekigiviriddeko okufa. Bwoba olunda embuzi, kikulu nnyo okuziwa ekifo wezetayiza mpozzi n‘ekiyumba ekiyisa obulungi empewo.
Okuzuula ensolo endwadde.
Fuba okulaba nga okebeera ensolo bulijjo. Bwomanya embuzi ennamu engeri gyeba efaananamu, kiba kyangu okuzuula ensolo endwadde. Ensolo endwadde ziba tezeyagala, ziba tezikanula maaso bulungi, nga zivamu amaziga mu maaso, ennyindo eba etuyaana, olususu teruba luwewevu mpozzi n‘ennyindo eba evamu eminyira.
Engeri y‘okulabiriramu ensolo
Wekennenye ensolo bulungi nnyo ku makya n‘olw‘eggulo. Yawula ensolo z‘osuubira okuba endwadde era oziteeke zokka kikusobozese okuzekennenya n‘okuzetegereza obulungi.
Kakasa nti ensolo zo zonna zigemebwa endwadde za mirundi ettaano oba mukaaga, era okakasa nti zifuuyirwa buli wiiki era oziwe eddagala erigema ebiwuka wakiri omulundi gumu oluvanyuma lw‘emyezi 3 naddala embuzi enkulu ate ento kakasa nti oziwa omulundi gumu mu wiiki kuba bukwatibwa mangu.