Okulunda embizzi kulimu amagoba mangi, wabula embizzi zirimu obutyabaga bungi obwetaaga endabirira ennungamu okukendeeza ensobi.
Okwongerezaako, okubirizibwa okulunda embizzi eziri mu muwendo ogusoboka okulabirira okusinziira ku ssente eziriwo wamu n‘okuyiga ku bulunzi bw‘embizzi amangu ddala nga weebuuza ku balunzi abakugu.
Ebikolwa eby‘endabirira ennungi
Bulijjo zuula abakuguza emmere abatasirisa era okakase nti embizzi oziwa amazzi amayonjo zisobole okukula obulungi.
Era kakasa nti olongoosa ebiyumba by‘embizzi buli lunaku, okukyusa n‘okwongeramu eby‘ensula ebipya okwewala okubalukawo kw‘ebirwadde.
Okwongerezaako wandiika era okakase nti okuuma ebiwandiiko okusobola okumanya amangu ensimbi n‘ensaasaanya
Bulijjo wandiika obungi bw‘emmere gye zirya era ozuule ebifo ebya layisi ew‘okuggya amazzi okukendeeza ku nsaasaanya ya faamu.
Fuba okulemera ku kugemesa buli kadde okwewala okufiirwa ensolo eri endwadde.
Okwongerako, kola enteekateeka ya bizinensi okukola nga eky‘okulabirako mu kulunda embizzi n‘okwekenneenya ensaasaanya n‘ensimbi mu faamu ng‘olaga ennyingiza n‘enfulumya.
Mu kusembayo kakasa ennunda ennungi ey‘embizzi n‘obubizzi obuto. kino kirina okukolebwa okwongera ku magoba n‘okwewala okufiirwa ensolo.