Mubulunzi bw‘enkoko mulimu okusomozebwa kwamanyi wabula singa weewala ensobi ng‘ogoberera enzirukanya ya faamu y‘enkoko ey‘omulembe osobola okufuna ensimbi nyingi mubulunzi.
Kyamugaso nyo okutandika obulunzi bw‘enkoko nga otandika n‘enkoko ntono kikusobozese okufuna obumanyirivu obumala mununda y‘enkoko ey‘omulembe. Osobola okulunda enkoko nga ozikumira munnyumba oba okuzireka n‘ezitayaya.
Enzirukanya ya faamu
Wetanire nyo okuwandiika enfulumya n‘enyingiza y‘afaamu wamu n‘okukuuma ebiwandiiko ebikwaata kufaamu. Ekirala ffuba nnyo okulabirira obukoko obuto obwakaletebwa ku faamu nga obuwa ebugumu erimala wamu n‘obukuta obuyonjo okusobola okubutangira obutafa.
Mubukoko obuto saamu obukuta obumala olwo obukoko busobole okufuna ebbugumu erimala wabula obukuta buno bulina okuba nga buyonjo ate era nga bukalu bulungi wamu n‘okubukyusa buli kiseera.
Kakasa nga ennyumba y‘enkoko erina amabanga agamala okusobola okuyisa obulungi empewo awamu n‘okuwa enkoko ekitangaala ekimala kisobozese enkoko okweyagala obulungi.
Lambula enkoko zo buli kiseera okusobola okulaba endwadde awamu n‘ezo ezetaaga obuyambi era kakasa nga enkoko zirisibwa ku mmere erimu ekiriisa olwo osobole okufuna amagoba mubulunzi bw‘enkoko.
Buli kiseera kuuma obuyonjo awamu n‘okukakasa nga ennyumba y‘enkoko eyisa bulungi empewo okwewala endwadde wamu n‘okusobozesa enkoko okula n‘okubiika obulungi.
Weewale nyo okukumira enkoko mukifo eky‘omugoteko kubanga kino kiyinza okuziviirako obutakula bulungi awamu n‘okufa.
Ffuba nyo okulaba nga buli kiseera olinamu ku nsimbi kubanga mubulunzi bw‘enkoko mwetaagamu ensimbi. Ekisembayo kuumira wala eddagala lyonna ery‘obutwa okuva mukifo awalundirwa enkoko okwewala okufirizibwa.