Enkwata y’eddagala eritta ebiwuka
Ekisooka, bulijjo yambala ebibikka engalo ebitayitamu ddagala ng’oggya eddagala mu tterekero, kebera oba mulimu emikebe egitonnya olongoose era okakase nti emikebe gy’eddagala ogiteeka wala okuva awali abantu bwoba ogitambuza era olina okwambala eby’okwekuumisa nga otabula wamu n’okutikka eddagala. Bikkula omukebe n’obwegendereza ku kifo ekiseeteevu, pima era onyumunguze omukebe emirundi esatu era amazzi g’onyumunguzza ogayiwe mu ttanka efuuyira.
Mu ngeri y’emu, yiwa eddagala n’obwegendereza okuva mu mukebe okwewala okusammuka era omukebe bwe gukalira, gunyumunguze emirundi esatu mangu ddala era okakase nti eddagala lyonna ligenda mu ttanka efuuyira omale olindeko ebutikitiki 30. Omukebe guteekemu kwota y’amazzi, oganyeenye okumala obutikitiki 30 ogayiwe mu ttanka okiddemu emirundi emirala ebiri.
Teeka omukebe ogubaddemu eddagala n’emikebe egipima mu tterekero ly’eddagala eritta ebiwuka, kebera ekifo era okakase nti tewali bantu oba ensolo nga tonnafuuyira. Kakasa nti ebikozesebwa byonna bikola bulungi okebere n’embeera y’obudde era olekere awo okufuuyira amangu ddala nga embeera y’obudde ekyuse.
Okwongerako, mu nnyumba ezirimirwamu, fuluma osabe obuyambi bw’ofuna kamunguluze nga ofuuyira era okebere oba waliwo eddagala erisigaddemu era olongoose ttanka nga oyongeramu amazzi ku kipimo kya 10:1.
Ekisembayo, ekifo ekifuuyiddwamu kifuuyire ng’okozesa eddagala erijaabule erisigaddewo.