Bwobeera mu bulunzi bw‘enkoko za maggi, olina okuba n‘enkoko ezibiika obulungi ennyo kubanga toba na mulimu singa tezibiika.
Okufunamu kwa enkoko za maggi kisinzira ku bungi bwa maggi enkoko bwezibiise n‘olw‘ensonga eyo nga tolina nkoko zibiika bulungi tosobola kufunamu magoba gawera okuva mu faamu yo. kiba kirungi nnyo noyawula enkoko ezibiika obulungi kuzitabiika bulungi.
Okuzuula enkoko ezibiika obulungi
Bweziba za mu butimba, olina okumanya ennamba n‘obungi bwa maggi agabiikibwa mu buli kayumba. Bwekiba nti ennamba ya maggi ekwatagana n‘obungi bw‘ebinnyonyi mu buyumba tekiba na buzibu wabula obuzibu bujja singa amaggi gaba matono okusinzira ku binnyonyi okugeza bwobeera n‘ebinnyonyi 3 nosangamu eggi limu, kitegeeza enkoko 1 oba 2 tezibiika bulungi.
Enkoko ezibiika obulungi ziba n‘ekiwonzi n‘amayunju agatangalirira, nebbanga ddene wakati wa amagumba abiri agali wansi wempuliru.
Ku enkoko ezibiika obubi, engalo 2 tezisobola kugya mu bbanga eriri wa magumba abiri ate ekiwonzi n‘amayunju bibeera bimsssspi n‘obuzito obwenkanankana n‘ekiro 1.8.
Endabirira
Oluvannyuma ng‘okakasiza enkoko ezitabiika bulungi, ziggyemu era ozawule kuzinnazo kubanga ziba zirya buli nga tezibiika ekireetera omuwendo okuba omutono ddala. Kubira omusawo yekkennenye obuzibu kwebuba buvudde.