Nasale beedi y‘enimiro ey‘ekiseera endokwa wezikulira. Kyamugaso nnyo eri abalimi okuyiga engeri yokusimba wamu n‘endabirira y‘endokwa z‘emmwanyi.
Ensigo z‘emmwanyi ennungi zirina okuba nga nene bulungi era nga ziva kubirime ebyamakungula amalungi, ekirala zirina okuba nga zikakasiddwa. Kakasa nga osimbuliza endowa ezirina obuwaanvu wakati wa ssentimita 20-40. Laba nga ebibikibwa mu beedi y‘e mwanyi bikalu bulungi so nga sibya kiragala kubanga eby‘akiragala bireeta ebbugumu erikitataganya munkula y‘endokwa. Ng‘omulimi w‘emwanyi kakasa nga ofukirira endowa buli kumakya oba buli kawungeezi kino kiyamba amazzi okulwa muttaka akabanga akawerako wabula wegendereze obutasiimba ndokwa wansi nnyo muttaka kubanga ziyinza okuvunda.
Ebigobererwa mukusiimba
Bwoba nga tonasiimba kakasa nga olonda ekifo ekiseteevu obulungi, bw‘omala kabala ettaka omementule n‘amafunfugu kino kiyamba ettaka okukuuma bulungi amazzi akabanga akawerako era nga kiyamba ne n‘ensigo okukula obulungi. Ng‘ebula olunaku lumu osiimbe ffukirira beedi era n‘ebwooba osiimba ensigo kakasa nga oziwa amabanga agamala okukendeeza kunsasana y‘endwadde. Bwomala okusiimba ensigo zibike nakataka katonotono kino kiyamba kunsigo ezisimbiddwa obutaziyira. Nabwekityo nga wakamala okusiimba kakasa nga obikka bbedi n‘essubi ekkalu amangu ddala ettaka lisobole okusigala nga liweweevu, ffukirira ensigo buli lunaku paka lw‘ezimeruka.
Nga ensigo zimeruse zimba ekisikirize kya buwaanvu bwa ffuuti bbiri endokwa zisobole okula obulungi. Bwoba nga ofukirira endokwa ng‘osinziira wagulu ekimera kireme kukosebwa mangyi ga mazzi. Simbuliza endokwa kumyeezi ebiri oba esatu mu budde bw‘okumakya oba akawungeezi wabula sooka offukirire ekimera nga tonasimbuliza oleme kukosa mirandira ng‘osimbuliza.
Endokwa zisimbe mu layini kubanga kino kiyamba mukufukirira wamu n‘okukoola era kaksa nga ebinya endokwa mwezisimbibwa mulimu ettaka eggimu.
Endabirira y‘endokwa
Sooka ofukirire ettaka nga tonasimbuliza n‘ebwoba osimbuliza ekimera kisaleko omulandira omuwaanvu ekimera kireme kula nga kyewetaweta. N‘ekisembayo, koola omuddo, ffuyra obuwuka obwobulabe wamu n‘okugya endokwa endwadde mu nimiro.