Okwongera ku makungula g‘ebinazi, weetaaga okukozesa enkola z‘ennima ennungi.
Nga tonnateekawo nnimiro ya kinazi, kakasa nti weekenneenya bulungi ettaka era ekifo ky‘okulimiramu kirina okuba nga kiri mu kifo ekyetadde okusobozesa ebinazi okufuna akasana era nga lirina amazzi agamala. Okutandika ennima y‘ebinazi, funa ensigo ennongooseemu ez‘omutindo era okole emmerusizo. Kitandika okubala ebibala wakati w‘emyaka esatu ku ena. Ensigo ezitalongooseddwamu zitwala wakati w‘emyaka mukaaga ku musanvu okutandika okubala ebibala.
Okusimbuliza
Oluvannyuma lw‘emyezi mukaaga simbuliza endokwa oziteeke mu nnimiro nga zimaze okuguma. Mu kusimbuliza, sima ebinnya by‘okusimbamu nga bw‘oyawula ettaka lya waggulu ku lya wansi.
Jjuza ekinnya ky‘okusimbamu n‘erimu ku ttaka lya waggulu okukola ng‘omusingi gw‘ekirime. Ggyamu ekiveera omusimbibwa era oteeke endokwa mu kinnya ky‘okulimiramu. Tosimba ndokwa wansi nnyo mu kinnya kubanga kino kikendeeza ku nkula yaazo.
Bwe wabaawo ebitonde byonoona ebirime ebirya omuddo mu kitundu, kozesa akatimba k‘ekyuma okukuuma endokwa lwakiri omwaka gumu.
Endabirira
Oluvannyuma lw‘okukwata kw‘ekirime (mu nnaku nga asatu oluvannyuma lw‘okusimbuliza), teeka ekigimusa kya urea okutumbula enkula yaakyo.
Kuuma ennimiro nga teriimu muddo oguteetaagisa mu nnimiro ng‘okozesa eddagala erifuuyira omuddo erirondeddwa oba okugukuula. Bwoba tosobola kuggya muddo guteetaagisa mu birime mu nnimiro yonna, kuula omuddo lwakiri ekitundu kya mita okwetooloola ekinazi. Kino kikendeeza ku kuvuganya kw‘ebirungo n‘amazzi mu birime ebirina omuddo oguteetaagisa.
Omuti gw‘ekinazi bwe guba gukaddiye nga tegukyabala bulungi, guggyemu osimbe buto.