Okutangira ebiwuka ebyonoona ebirime
Nga emu ku nkola ez’enjawulo ez’okutangira ebiwuka ebyonoona ebirime, eddagala lya fawligen lireetera obusaanyi okulwala ne bufa. Wabula, ebyetaagisa okuteekateeka eddagala lya fawligen mulimu ekipima, amazzi, eby’okwekuumisa n’ebbomba.
Mu ngeri y’emu, omuntu yeetaaga ebbomba 4 ez’eddagala lya fawligen okufuuyira ennimiro ya mita 70*60. Yambala eby’okwekuumisa, teekamu amazzi amayonjo ga kitundu ky’ebbomba era onyeenye bulungi eccupa y’eddagala lya fawligen olwo opime 10ml ez’eddagala oyiwe mu bbomba omale ojjuze ebbomba n’amazzi omale osaanikire.
Ebikozesebwa okupima birongoose oluvannyuma lw’okubikozesa wabula si kumpi n’awantu awafunibwa amazzi era eddagala litabulire mu bbomba nga okozesa akapiira ppaka bwe lyetabula. Ebbomba gikwatire mu kifo kye kimu ofuuyire butereevu ku bisenge by’ebirime era ofuuyire okutuusa nga ebbomba ekalidde omale oyoze ebbomba n’ebyokwekuumisa.
Okwongerezaako, naaba engalo n’amazzi ne ssabbuuni era tokkiriza bantu kuyingira nnimiro ppaka nga likaze era ekisembayo ddamu olambule ennimiro oluvannyuma lwa wiiki emu era oddemu ofuuyire okumala wiiki 3-5.