Engeri y’okutandikamu okulunda ente z’amata

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_r5ON9AQqDQ&t=58s

Ebbanga: 

00:10:13

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»Mukatambi kano tujja kukulaga engeri y'okutandikamu okulunda ente z'amata.«
Obulunzi bwente z’amata bizinensi efuna kubanga obw’etaavu bwebyo ebiva mu mata buli waggulu, newankubade nga okutandika faamu yente z’amata waliwo ebikulu eiyina okuteekebwa mu nkola.
Wabula nga otandika okulunda ente z’amata oyina okugula ebisolo ebiramu era ebigemeddwa okukendeeza ku kufa n’obulwadde. bulijo ensolo z’amata zetaaga ebiriisa bingi okusinga kunsolo ezenyama n’olweekyo ebiriisa ebitali kumutindo bikendeeza obungi bw’amata. Mukw’eyongerayo nga tonaba kukozesa kintu kyonna ku faamu y’amata sooka otegeere gyekiva okusobola okukendeeza ku kusasaanyizibwa kwe nddwadde.
 

Eby’enkizo

Tandika nga okola okunoonyereza okungi ennyo ku lulyo lw’ensolo olulungi wamu n’okufuna okuwabulwa okuva mubitongole by’obulimi n’obulunzi okusobola okukola okusalawo okulungi, n’okutebereza omuwendo egw’etagibwa okukozesa.
Eky’okubiri, salawo w’onaja emere enekozesebwa ebisolo. Nate era tunula nekumuwendo gw’okupangisa ettaka okusobola okwanguyirwa okusalawo ebisolo bimeka eby’okuteeka mubuli kifo.
Kakasa ekuwakisa okw’abuli kiseera. Okuwakisa okutali kwansolo kulinyira ndala kukubirizibwa kubanga kwa sente ntono n’okufunamu okuli waggulu singa kuba kukoleddwa bulungi.
Mukw’eyongerayo, yiga endabirira z’ensolo ezenjawulo okusobola okufuna obukugu n’amagezi.
Zimba amaterekero, enyumba omukamirwa, enyumba y’obuyana, enkola ey’okufukirira omuddo. Era kebera ensolo nga tonazigula okusobola okuzuula ebitali bituufu.
Bulijo funa amagezi okuva eri abalunzi abalala, obutale, era otebereze omuwendo ogwetaagisa okutambuza obulunzi wamu n’ebiteekebwaamu.
Okugattako, gula ensolo ezitali nddwadde, z’awule mukuzitambuza okutangira era n’okuziyiza okusasaana kw’obulwadde.
Buli kiseera kebera enkwa ku nsolo era otereke emere bulungi okwewala okw’onooneka. Mukukama kakasa nti okamira ensolo mukifo ekiyonjo n’engalo enaabe era enkalu.
Ekisembayo kuuma ebiwandiiko by’ensolo okusobola okugoberera embeera z’ensolo, n’emiwendo egiteekebwaamu
 ate era kola teekateeka nga tonaba kutunda nsolo obutatuuda lulyo lulungi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:24Kola okunoonyereza okumala ku lulyo era okolagane n'ebitongole bw'obulimi n'obulunzi.
01:2502:27Kola okusalawo ku wa emere gy'eva, tuunulira nnyo emiwendo gy'okupangisa ekifo era otereke emere kulw'ebiseera by'obunyogovu.
02:2803:30Buli kiseera wakisa ensolo oba kozesa enkola ey'okuwakisa ensolo nga teweyambisiza nnume.
03:3103:57Yiga kunkola enzenjawulo mukulunda ensolo.
03:5804:39Zimba amaterekero, enyumba omukamirwa, enyumba y'obuyana, amazzi n'ebyuuma eby'okufukirira omuddo
04:4005:31Lambula ensolo nga tonazigula, funa okuwabulwa n'obubaka okuva mubutale.
05:3206:20Teebereza emiwendo gy'okukozesa, obutale n'amagoba.
06:2106:39Gula ensolo ezitali nddwadde, z'awule mukuzitambuza era nebweziba zirwadde.
06:4007:15Mannya ewava ebikozesebwa, bulijo kebera enkwa ku nsolo era oziwe emere ey'omutindo.
07:1608:19Ziwe ebiriisa, tereka emere bulungi. Kamira ensolo mukifo ekiyonjo n'engalo enaabe.
08:2010:13Kuuma ebiwandiiko by'ensolo, kola enteekateeka nga tonatunda nsolo.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *