Enkoko zatunzi kukatale k‘ensi yonna n‘abwekityo mubulunzi bw‘enkoko osobolera ddala okufunamu amagoba mangi ate nga okutandika tewetaaga bintu bingi.
Mubulunzi bw‘enkoko mulimu emirimu mingi ng‘amuno mulimu okwaluza wamu n‘okulunda enkoko e‘zamagi oba e‘ennyama. Bwoba oyagala okutandika obulunzi bw‘enkoo osobola okugula faamu y‘enkoko ezirundibwa kubanga faamu eno ebeera n‘abaguzi wamu n‘abakozi abamanyi ekyokola. Mubulunzi bw‘enkoko kukulu nyo okukuuma omutindo nga mulungi okusobola okusikiriza abaguzi.
Ebigobererwa mubulunzi
Nga tonakandika bulunzi bwankoko sooka amanye ekika ky‘ekoko eky‘okulunda era bwomala noonya akatale mwonatunda enkoko n‘ebyo ebizivaamu.
N‘onyereza engeri entuufu ey‘okulunda enkoko nga muno mulimu okulundira enkoko munnyumba oba okulunda enkoko ezeriisa zokka. Bwomala okugula obukoko kakasa nga bulabirirwa bulungi buleme kufaako era noonyereza n‘ekumiwendo kw‘onatundira ebiva munkoko zo. Ekirala kakasa nga olunda enkoko eziri kumutindo omulungi osobole okusikiriza abaguzi.
Ngatonatandika bulunzi bwa nkoko sooka ofune obumanyirivu okuva eri abalimisa oba abalunzi abalala. Ekirala ng‘atonadandika bulunzi kakasa nga olina sente ezimala kubanga mubulunzi bw‘enkoko mwetagamu kunsimbi ezo kusobozesa okudukanya faamu.
N‘onyereza kukatale kw‘onatunda enkoko wamu n‘emiwendo kwonatundira enkoko. Ekirala noonya era otegeere abaguzi be nkoko by‘ebasinga okwetaaga okuva munkoko wamu n‘okumanya oba bakuwagira mubulunzi bw‘enkoko. Kola okutebereza ku namba y‘abaguzi abanagula enkoko zo kikusobozese okukola enteekateeka entuufu. Noonya akatale nga tonatandika kulunda nkoko osobole okumanya wonatunda enkoko wamu n‘ebeeyi kwonatundira enkoko n‘ebyo ebizivaamu.
Bwoba otunda ebiva munkoko bi ssengeke era obipakiinge bulungi kikusobozese okusikiriza abaguzi olwo lw‘onafuna amagoba mubulunzi bw‘enkoko. Ekirala kakasa nga otunda enkoko, kalimbwe, amagi, n‘ennyama eby‘omutindo omulungi kubanga kino kikuyamba okufuna abaguzi n‘amagoba.