Okulima obutunda mulimu ogufunira ddala amagoba, naye okuyiika ekimuli kikendererza ddala amakungula ekivirako okusalwa eri abalimi, embeera eno nyangu okutaasa.
Okugatako, ebiriisa nga boron, zinc, copper, phosphorous ne potassium biyamba okukuuma ebimuli obutayika. Okwongerako bwoba otekamu obukalabanda bulina okufanana abantu oba kamunye kubanga bitibwa nnyo ebinyonyi.
Ebikireeta
Obutabawo biwakisa bimuli kino kibawo singa ekimuli kyebikula n’ewatabawo kiwuka oba kinyonyi kikitundula/kiwakisa.
Era obulwadde mu butunda obukwata ebimuli, kino kinafuya omusuwa ogukwatirira ekimuli.
Ebbula lya mazzi erisuse ekivirako omusuwa okukala. Era n’obutaba nabiriisa nga bron, zinc, copper, magnesium, phosporus ne potassium bivirako ebimuli okukunkumuka.
Obutaba n’abigimusa mu ttaka okusobola okubezaawo ekimuli nga kikolebwa wamu n’embeera y’obudde eyitiridde okugeza enkuba namutikwa.
Ekisembayoekimuli ky’obutunda okulumbibwa ebinyonyinebibukubamu ebituli olwo nebikunkumuka.
Okukirwanyisa
Tandika nakuteeka mizinga gya njuki okwetolola enimiro zisobole okutundula ebimuli olwo ononyereze ku bulwadde era ofuyire eddagala eryetagisa .
Tekangawo enkola eyokufukirira mu faamu okweza emitunsi okukala era okakase ntiokuuma ebiriisa ebimala mu ttaka okuyambako okunyweza ebimuli.
Tekangamu ebigimusa ebyobutonde kumukumu mu butunda okwongera ku biriisa mu ttaka.
Ekisambayo, saliranga obutabi okukendeeza ku bunyogovu mumatabi era otekemu obukalabanda okugoba ebinyonyi.