Enva endiirwa zisobola okulimibwa okuva mu ndokwa. Enkola eno yeetaagisa enva endiirwa ezisimbuliziddwa obulungi okumala ennaku bbiri ku ssatu okuleeta ebikoola ebipya n‘emirandira emipya.
Nga osimbuliza enva endiirwa ezirina enduli empanvu, simba walako mu ttaka, n‘ezirina enduli ennyimpi ozisimbe kumpimpi.
Okusimbuliza enva endiirwa
Abalimi balina bulijjo okusimbuliza mu nnaku ez‘ekiddedde oba olweggulo ddala okuyamba endokwa okulama amangu. Fukirira endokwa zisobole okufunira ddala amazzi era n‘ettaka okukwata obulungi emirandira. Teekateeka ennimiro nga ogattamu wamu n‘okufuula ebigimusa eby‘obutonde okwongera okuvunda.
Mpola mpola, sima endokwa n‘ettaka lyazo. N‘obwegendereza yawula endokwa. Ggyako ebimu ku bikoola ku kimera okukendeeza ku misinde amazzi kwe gakiviiramu olw‘ebbugumu. Jjuzaamu enva endiirwa ezikula amangu okwongera okuyingiza ssente. Mu ngeri ya kwenkanyankanya, fukirira ebirime olw‘okukula kw‘emirandira okulungi ekireetera okusika obulungi ebirungo okuva mu ttaka.