Engeri y’okusimba ebijanjaako by’ekika kya winged beans

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=XOmAR_pOKXI

Ebbanga: 

20:41:34

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Asian garden 2 table
Ebijanjaalo ebiyitibwa winged beans era biyitibwa angled beans, birimu ebiriisa era ebitundu byabyo byonna biriika. Bikula nga bigimu era nga bigumu mu biseera by'ekyeya. Okwongerako, ebijanjaalo ebiyitibwa winged beans bikula bulungi nnyo era biwa amagoba mangi mu bifo ebirimu ebbugumu eringi wakati wa 68-78 degrees celicius. Bulijjo ebijanjaalo bino bitwala wiiki 1-2 okumeruka era ebbugumu eringi libisobozesa okukula amangu.
Okusimba n’endabirira
Bulijjo tandika ng’osimbira endokwa munda okusobozesa ensigo okukula amangu era ogattemu ebigimusa ng’osimbuliza okusobozesa emirandira okukula amangu. Okwongerako, teekawo olukomera lwa fuuti bbirimu bugazi era kakasa nti ebirime birina amabanga agamala ku lukomera. Era kikubirizibwa okukoola ebikoola ebito okubisobozesa okukula amangu. Ekirala, ggyamu ebirime ebisusse n’ebikoola era oteekemu ebigimusa okubisobozesa okumulisa.
Okukungula 
Kakasa nti otandika okukuula ebijanjaalo bino wiiki bbiri oluvannyuma lw’okumulisa okubiziyiza okukaluba nga tebikyaliika n’okusobozesa ebimuli ebirala okumulisa. Ekisembayo, bulijjo kungulanga ebijanjaalo ebikalu n’emmere y’omu ttaka okwewala okufiirizibwa.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:51Ebijanjaalo ebiyitibwa winged beans birimu ebiriisa , ebitundu byabyo byonna biriika era bikula bulungi nnyo mu bbugumu.
00:5201:47Bikula nga bigimu era nga bigumu mu biseera by'ekyeya, tandika na kusimbira ndokwa munda, kubanga ebijanjaalo bino bitwala wiiki 1-2 okumeruka.
01:4802:13Teekamu ebigimusa ng'osimbuliza, teekawo olukomera lwa bugazi bwa fuuti bbiri, ebbugumu eringi lisobozesa ebirime okukula amangu.
02:1402:44Kakasa nti ebirime birina amabanga agamala ku lukomera, koola ebikoola ebito.
02:4503:08Ebireeta ebizibu mu kubala ly'ebbugumu oba obunnyogovu mu kifo, ebirungo by'ettaka.
03:0904:05Ggyamu ebirime ebisusse n'ebikoola era oteekemu ebigimusa ebirala.
04:0605:05Kuula ebijanjaalo wiiki bbiri oluvannyuma lw'okumulisa, ebijanjaalo bino bikulira nnyo mu bbugumu eringi.
05:0606:01bulijjo kungulanga ebijanjaalo ebikalu n'emmere y'omu ttaka okwewala okufiirizibwa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi