Ng‘engeri endala ez‘okulima mu ebimmera, okusalira n‘okukwasa bbiringannya kwongera ku mutindo nekubungi bw‘amakungula olwo abalimi nebasobola okufunamu ekiwera.
Okusalirira kukolerebwa okwongera ku nkula y‘ebimera n‘amakungula era okusingira ddala kukolebwa ng‘otemako amatabi g‘ebimera agakulira wakati okusobozesa ekitangala n‘empewo okubuna ekimera. Kinno kikendeeza ku birime obutavvugannya mu kufuna ekitangaala ekivva musanna.
Okusalira Bbiringannya.
Woba osalira lekako amatabi agatasuka 4 okusobola okukuuma omutindo ,okufuna amakungula agawera n‘okukuuma ekibala nga kiramu. Ekimmera kiteekeko ebiwanirira amatabi era ebimuli ebikozeseddwa mu kuzaaza bireke ku kimera , jjako ebikoola byonna ebikulira wansi w‘ekirime osobole okwanguyirwa mu kujjamu omuddo oguteetagibwa nemukuwakisa ekimera.
Mu kwongerako, obuwuzi obuwanirira ekirime bulina okuba nga bulebera kikuyambe obutamennya nsukusa singa empewo eyamannyi oba enkuba ennyingi ng‘eze.
Okukwasa ekimmera
Kwasisa ekimmera ng‘oyiwa enkwaso z‘ekimmera ekisajja ku kitundu ky‘ekirime ekikazi . Kinno kyongeera ku makungula g‘ekimmera. Ekiseera ky‘okumakya ky‘ekisinga obulungi mu kuzaaza ebimmera.
Mu kumaaliriza , Ekimmera kiwe ebijimusa ebirimu ebbirungo eby‘enjawulo ebiva mu ttaka .