Kubanga kirungi okusigamu, omutindo n‘obungi obwebiva mu mbuzi bisinzira ku kika nomutendera gwa tekinologiya ogukozesebwa mu kulunda.
Embuzzi enkazi ebeera ku musalo okumala esaawa 24 nga yetegse okulinyirwa enume okusobola okuwaka era kino okirabira ku bubonero. Embuzi enkazi etandika okunyenya omukira era n‘obukyala bwayo nga buzimbye wamu nokuvaamu ebiringa eminyira.
Obubonero bw‘okusala
Embuzi enkazi ewalampa embuzi endala enume etabuka kuba eba ewunyiriza akawowo akava ku nkazi era etandika okukaaba. Ekisembayo, embuzi emala n‘ogwako enaku 150 oba emyezi 5.