Enkoko ennansi zimanyikiddwa okutwala ebbanga eddene ennyo okukula atera n’okuba entono mu kikula. Waliwo engeri y’okuzirundamu esobola okwongera ku kukula mpozzi n’ekikula kyazo.
Enkoko zo zigule ewantu ewesigika nga zimanyikiddwa okuwangaala ennyo kubanga kino kireetera enkoko okukula obulungi . Bwoba nga gwe agenda okweyaluliza amagi go nga okozesa enkoko oba ekkulizo, kakasa nti ofuna amagi okuva eri omulimi amanyikiddwa nti alina enkoko oba amagi agaluzibwa amanene ennyo n’okusinga enkoko eza bulijjo.
Enkola endala ezikolebwa mu kulunda
Fuba okulaba nga okebera obulamu bw’enkoko zo bulijjo okukakasa nti tezirina buwuka butawaanya binnyonyi , endwadde oba kisago kyonna. Bulijjo fuba okulaba nti enkoko zo nnamu nga ozigema, ozijjanjaba obulwadde amangu ddala, oyawula endwadde ku nnamu, wekuuma okwewala okuleeta obulwadde mpozzi n’okusula obulungi enkoko ezifudde.
Ggyamu ebyo byonna ebireeta ekkabiriro era okakase nti enkoko zo ziri bulungi nnyo.Kino kikolebwa nga ozizimbidde bulungi ekifo mw’ezibeera okuziyiza ebizirya okuyingira, ozifuuyira bulungi n’eddagala eritta ebiwuka, ziyiza enswera ennyingi okuyingira mu nnyumba yaazo, era oggyemu ebyo byonna ebitawaanya enkoko.
Endiisa ennungi. kino kikolebwa nga ebinnyonyi obiwa emmere erimu ebiriisa byonna , erimu empeke, amazzi agamala era emmere erina okuba nga esinzira ku bbanga ebinnyonyi lyebiyina. Osobola enkoko okuzongerezaako nga oziwa amawolu.
Bulijjo enkoko ziteeremu ekitangaala ekimala. Kino kiziyamba okulya ennyo n’okuteekako ennyo omubiri .
Era enkoko zo ziwe nnyo ebyo ebintu ebiziyamba okukula eby’obutonde. Kino kiyamba enkoko okuteekako omubiri nga wegendereza emmere gy’oziwa muno mwe muli katungulu ccumu, ekimera kya bitter kola, ekinzaali, cloves, thyme , entangawuuzi, kamulaali wa cayenne, black pepper. Kakasa nti obiwa enkoko mu kipimo ekirambikiddwa.