»Engeri y‘okulundamu emmale e Nigeria«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=9w4Y53tkm68&t=129s

Ebbanga: 

00:15:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Sunshine Resources Srt
»Akatambi kano kalaga emigaso n‘emitendera egigobererwa mu kulunda emmale. Okuva mu kunnyonyolwa okukoleddwa mu katambi omuntu yenna asobola okutandiika okulunda emmale«

Okulunda emmale kufuna kiralu naddala eri abalunzi ate kyangu kya kutandiika kuba kyetaagisa ebyetaago bintono ddala gamba nga ebiddiba by‘amazzi ebya pulasitika, awava amazzi, amasanyalaze n‘omuddumu.

Okwongerezaako, waliwo emigaso mingi nnyo egiva mu kulunda emmale okugeza, ziwa omubiri amaanyi, kyetaaga kuyikula ttaka, zikula mangu, zirya ebintu bingi, zikulira mu mazzi agalimu omulamya(omukka gw‘obulamu) omutono, zisobola okuteekwamu nga nnyingi, zisobola okutundwa mu ngeri nyingi, ziri ku katale, ziwa abantu emirimu,ate zetaaga entandiikwa ntono nnyo.

Ebirina okuteekebwa mu nkola.

Emmale ziriise emmere erimu ekiriisa ekyegasa n‘ebirikiriza okusobola okufuna omutindo gw‘eky‘ennyanja omulungi.

Okwongerezaako, kakasa nti eky‘ennyanja okiriisa enfunda eziwera mu lunaku ate era ofuba okulaba nga zirya bulungi emmere yonna egwewo.

Mu kwongerako, ziwe emmere etamementuka okwewala amazzi obutayonooneka n‘okusigala nga mayonjo.

Ekisembayo, kozesa emmere enaasobola okukuuma amazzi nga mayonjo okwewala okuziriisa ekisukiridde n‘okulemya okumanya obuzibu obuli mu ndiisa yaazo n‘endwadde eziyinza okubalukawo.

Emmere y‘eby‘ennyanja.

Emmere etandikirwako, eno erimu ebiriisa ebitabuddwa obulungi era eweebwa emmale ku nga zikyali nto.

Emmere etengejja, eno mmere ya by‘ennyanja ebikuzibwa era erimu ebirungo ebiyamba okugezza emmale n‘ezifuna omugejjo.

Emmere ekuza, eno erimu ekirungo ekisikiriza ekiretera emmale okugirya n‘ezikula bulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:19Ensonga lwaki wandirunze emmale.
01:2002:09zituwa ekiriisa ekizimba omubiri, tezetaaga kuyikula ttaka, zikula mangu, zirya ebintu bingi, zikulira mu mazzi agalimu omulamya omutono.
02:1003:38Osobola okuzigatta nga nnyingi, zisobola okutundwa mu ngeri nnyingi, ziri ku katale, ziwa abantu emirimu, zetaaga entandikwa ntono ddala.
03:3905:54Ebikozesebwa: ebiddiba bya mazzi ebya pulasitika, ekifo awava amazzi, omuddumu, amasanyalaze, ne genereta.
05:5507:14liisa eby‘ennyanja ng‘obiiwa emmere erimu ebiriisa n‘ebirikiriza.
07:1507:43Kakasa nti eky‘ennyanja okiwa emmere enfunda eziwera era ofeeyo okulaba nti zirya.
07:4411:28Ebika by‘emmere, emmere etandikirwako, emmere etengejja, emmere ekuza
11:2911:46Kozesa emmere etamementukira mu mazzi
11:4712:22Kozesa emmere esobola okukuuma amazzi nga mayonjo.
12:2315:07Emmale erina akatale kanene nnyo ate ziwa abantu emirimu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *