Omuceere kirime ekirimwa okutundibwa kwosa n‘okulibwa okwetolola ensi yona, wabula okugukuza kwetagisa emitendera nga bwoba ogitukiriza osobola okufuna amakungula amangi ddala.
Waliwo ebiwuka enbyenjawulo ebyomugaso n‘ebitali byamugaso mu misiri gy‘emiceere era nga ebitali byamugaso ebikosa nokukendeeza amakungula mwemuli stem borer ne army worms. Ebiwuka eby‘omugaso mulimu enjuki, dragon flies ne nabbuubi era nga bino tebirina kuttibwa kubanga bikolanga abalabebiwuuka ebyonoona omuceere. Bwoba olima omuceere kozesa eddagala eritta omuddo nga tonaba kusimba okusobola okulwanyisa omuddo.
Okulima omuceere
Kozesanga eddagala eritta omuddo nga tonasimba nera nga omuceere gumeruse enaku 21 nga omazze okusimbuliza okusobola okugulwanyisa obulungi obutakula kusingamuceere era nokukendeeza okulwanira ebiriisa n‘amazzi.
Mungeri yemu, fukirira beedi okkendeeza kungeri omuddo gyegumeramu mu misiri gy‘omuceere engeri omuceere gyegutagumira muddo wabula mu mbeera nga amazzi gomunimiro tegalabiridwa bulungi tekamu eddagala ly‘omuddo eriragirwa okukendeeza ku nkula y‘omuddo.
Okwongerako, tekamu NPK ngawayise enaku 10 nga wakasimba kubanga mu banga lin, omuceere guba guleese emirandira okutambuuza ebirungo nokubikozesa obulungi mu bungi obulagirwa mu buli hactare ate ku luuyi olulala otekeemu urea wegukunkumukira okusobola okukola oluyange obulungi. Bwoba otekamu NPK, okukka kulina kuba 27cm wansi okwewala okutabula ebigimusa n‘omuka ogusibwa.
Era lwanyisa ebiwuka ebimanyiddwa nga oyokya ebisaniiko, okukabala wamu nokwanjaaza amazzi mu nimiro nga omzze okukungula okusobola okutta obusanyi nga buziyira, era mengeri yemu, tabulamu kasooli kubanga ayambako okukendeeza akawuka akalya ekikolo ka stem borer mu nimiro y.omuceere. Mu kumaliriza kozesa ensigo engumu nga tegukosebwa nnyo bulwadde era kungula ku naku 30-45 nga gumaze okusa oluyange nga empeke zigumye nga zifuuse za kyenvu oba kitaka.